Omwana Paapa gwe yasitula ayagala kugenda kuziika
Apr 23, 2025
PAAPA Francis lwe yakyalako mu Uganda mu November 2025, yagenda e Namugongo ne Kololo ensi n’ensi y’omuntu gye baakung’aanira okubaawo ng’ekyafaayo kikolebwa.

NewVision Reporter
@NewVision
PAAPA Francis lwe yakyalako mu Uganda mu November 2025, yagenda e Namugongo ne Kololo ensi n’ensi y’omuntu gye baakung’aanira okubaawo ng’ekyafaayo kikolebwa.
Olukung’aana lw’e Kololo lwategekebwa okusobozesa Paapa okutuusa obubaka bwe eri abavubuka era mu bantu abeeyiwa ku kisaawe ekya Kololo Independence Ground mwe mwali Sunday Kizito Ssekyanzi ne katabani ke Alpha Raphael Ssekyanzi akaali ak’omwaka ogumu.
Paapa bwe yatuuka e Kololo, Kizito yasalawo okwetikka katabani ke ku mutwe kasobole okulengera ku Mutukuvu nga tamanyi nti ogwo gwe gwali omukisa ogutamanyi buyinke katabani ke okuba omu ku baana 7 bokka Katonda be yawandako eddusu Paapa n’abasitulako mu mikono gye n’abawa omukisa!.
Kati nga wayise emyaka 10 nga ne Paapa afudde, akaana ka Ssekyanzi akaavaamu eddaomulenzi ow’emyaka 11kakukunuseeyo, kaagala kugenda Roma okwetaba mu kuziika Omuzira Paapa Francis eyafudde ku Mmande.
Ssekyanzi ng’asoma ku Sheehan Standard Primary School yazze ku Bukedde ne taata we, Kizito omutuuze w’e Lungujja zooni 8 mu munisipaali ye Lubaga n’atunnyonnyola nti ebyaliwo e Kololo tabijjukira wabula emboozi yonna bazadde be bazze bagimubuulira okuva mu buto bwe.
Engoye (akasaati n’akapale) wamu n’obugatto bye yalimu ku lunaku Paapa lwe yamusitula n’amuwa omukisa baazitereka era bazze nazo ku Bukedde.
TAATA ANYUMIZZA EBYALIWO
Bwe twatuuka e Kololo ne mukyala wange Rita Nannozi, twatuula waggulu. Paapa bwe yatuuka mu kisaawe ne tukkirira amadaala era wakati mu kwesindika nga nsitudde Ssekyanzi ku mutwe abaserikale we baamulabira ne bamunzigyako ne bamukwasa Paapa.
Paapa yamusitula okumala eddakiika nga ssatu nga bw’amunywegera mu kyenyi, n’amukubako akabonero k’omusaalaba.
Abantu baatandika okuyaayaanira omwana, abaserikale ne batulagira okudda awaka era baatuvuga mu mmotoka okututuusa e Lungujja
No Comment