Eyagula ebya BMK mu bbanka n’atwaliramu ekizimbe ekitaaliko nkaayana ali mu kattu
Apr 23, 2025
OMUSAJJA agambibwa okugula emmaali ya BMK ku bbanka n’atwalimu ekizimbe ekitaaliko nkaayana ali mu kattu, RDC w’e Makindye bw’abiyingiddemu okuteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti okumusiguukulula.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSAJJA agambibwa okugula emmaali ya BMK ku bbanka n’atwalimu ekizimbe ekitaaliko nkaayana ali mu kattu, RDC w’e Makindye bw’abiyingiddemu okuteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti okumusiguukulula.
Dan Meshack Okware, yagula ennyumba za BMK ezisangibwa ku plot 46 e Buziga okuva mu Banka ya YAKO, wabula aba famire ya BMK baamututte ku Poliisi nga bagamba nti, yatwaliramu ekizimbe ekiri ku plot 44 wamu ne ofiisi omuli ebyuma ebya kkampuni ya BMK enzimbi.
Mu kiragiro kya kkooti ekiriko omukono gw’omulamuzi Samuel Kagoda Ntende ekyafulumizibwa nga March 27, 2025, kyagaana Okware ne banne okugobaganya aba famire ya BMK ku ttaka lino erya plot 44 n’okubataataaganya mu ngeri yonna, okubalemesa okuzimba okutuusa nga kkooti esazeewo eky’enkomeredde mu musango gwe baawaaba oguli ku nnamba 0671/2025.
Eggulo aba famire ya BMK beesitudde ne bagenda ewa RCC w’e Makindye, Caroline Nashemeza asobole okussa mu nkola ekiragiro. Yabasabye baddeyo leero alabe engeri gy’agenda okutee-kesa ekiragiro kya kkooti mu nkola.
Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, aba famire ya BMK baagenda ku poliisi y’e Kabalagala nga balina ekiragiro ekibawa olukusa olubakkiriza okusigala nga bakola emirimu gyabwe ku kizimbe ekiri e Buziga ku Mulamula Road, Block 273 Plot 44.
Wabula omuduumizi wa poliiisi y’e Kabalagala, Emmanuel Mafundo n’agaana okubawa obukuumi n’abasindika ew’omumyuka wa RCC atwala Makindye.
Munnamateeka wa famire ya BMK, George Muhangi agamba nti, si bamativu n’engeri ensonga zaabwe gye zikwatiddwaamu naye tebalina kya kukola bajja kulinda okutuusa ng’ensonga zaabwe zikoleddwaako.
“Ensonga zaffe zikandaaliridde okukolwako, naye buli muntu alina engeri gy’addukanyaamu emirimu mu ofiisi ye, naffe tetufuddeeyo katulinde enkya lwe batugambye, nga bwe kinaalema tujja kumanya nti, waliwo ensonga endala eziri emabega,” Muhangi bwe yagambye.
No Comment