Katikkiro Mayiga alambudde ku Kaggo eyawummula Tofiri Kivumbi Malokweeza
Apr 23, 2025
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ku Kaggo eyawummula Tofiri Kivumbi Malokweeza ekiseera kino omukosefu mu Maka ge agasangibwa e Kazo mu ggombolola ye Nabweru mu ssaza ly'e Kyadondo.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ku Kaggo eyawummula Tofiri Kivumbi Malokweeza ekiseera kino omukosefu mu Maka ge agasangibwa e Kazo mu ggombolola ye Nabweru mu ssaza ly'e Kyadondo.
Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku mukyala Tofiri Malokweza
Mayiga amutenderezza olw'obukozi bweyayolesa Kabaka ng'amuwadde Obwami, ekintu ekyanyweza ennyo Omusingi gw'Obwakabaka okuyitira mu bukulembeze bw'abaami nga Kivumbi Malokweeza.
" Ekimu ku bintu ebinywezezza n'okugumya Obwakabaka buno bukya buddawo, bwe bukulembeze obwoleseddwa abaami.
Abamu ku Baami Kabaka beyasooka okulonda mu bukulembeze bw'ebitundu ye Tofiri Kivumbi Malokweeza.
Baakolera mu bugubi naye nebawereeza n'obunyikivu n'okwagala era baaweesa Obwakabaka ekitiibwa, ng'avaayo n'olabira ddala Omwami wa Kabaka," Mayiga bwagambye.
Ng'oggyeeko obuwereeza bw'Obwakabaka Malokweeza yakola emirimu mingi egiggye egyamukulakulanya, Katikkiro Mayiga kyagambye nti yayolesa obunyikivu n'obuyiiya obwetaagisa ku mulembe guno naddala eri abavubuka.
Katikkiro Mayiga ng'ali mu maka ga Kaggo
Matia Kayijja nga ye Mwami wa Kabaka atwala eggombolola Ssabagabo Lufuka era muto wa Malokweeza yeebazizza Katikkiro olw'okufuna akadde n'ajja Okulambula ku muntu waabwe, ekintu ekigenda okumwongera amaanyi.
" Ssebo Katikkiro tukwebaza olw'okufisaawo akadde n'ojja Okulambula ku muntu waffe. Tusaba ng'ozzeeyo otwebalize Ssabasajja Kabaka olw'obuvunanyizibwa bweyamuwa ate nammwe abakulu olw'obukulembeze obulungi bwemwolesa," Kayijja bwayogedde.
Mukyala wa Malokweeza nga ye Ruth Ndagire Malokweeza agambye Katikkiro amanyeewo ebibadde birowoozebwa abantu nti Mmengo yabeerabira era n'alaga essanyu olwa Katikkiro okubawa obudde n'ajja okubalambulako n'amusabira emikisa.
Ate ye Steven Malokweeza ku lw'Abaana abuulidde Katikkiro nga Mukadde waabwe Ono bweyafuna obuzibu ku mutima n'okutawanyizibwa ku bwongo naye n'alaga okwenyumiriza nti yabagaagazisa okuwereeza Obwakabaka era nga bangi kino baakitandiika okuyitira mu Kika kyaabwe eky'engonge.
Katikkiro ng'atuuka ewa Kaggo
Katikkiro awerekeddwako Minisita wa gavumenti ez'ebitundu mu Buganda Joseph Kawuki, Omwami akulembera essaza ly'e Kyadondo mu kiseera kino, Kaggo Hajj Ahmed Matovu Magandaazi n'Abaami ku mitendera egiddako.
Mayiga yeebazizza bonna abali ku mulimu gw'okulabirira n'okujjanjaba Omwami wa Kabaka Ono era n'abakwasa byamwetikidde.
Ate okwaniriza Katikkiro abaana babaddewo n'abamu ku Mikwano gya Famire, Ssaalongo ne Nnaalongo Wamala.
Malokweeza yakulembera essaza ly'e Kyadondo wakati wa 1999-2013 era mu kiseera kino awereeza Klezia ng'Omuserikale wa Paapa.
No Comment