Ebintu ebifulumira mu mumusulo ebiranga endwadde

Apr 24, 2025

OLWOKUNA oluwedde, twakulaze langi y’omusulo gwo n’endwadde z’eranga. Leero, Dr. Mbaaga Kigongo omukugu mu ndwadde z’omusulo, okuva ku ddwaaliro lya Uro Care Hospital e Nansana agenda kukulambikira ebintu ebirala mukaaga ebifulumira mu musulo, nga biranga endwadde na lwaki bw’olaba omusaayi olina kudduka mbiro mu basawo.

NewVision Reporter
@NewVision

OLWOKUNA oluwedde, twakulaze langi y’omusulo gwo n’endwadde z’eranga. Leero, Dr. Mbaaga Kigongo omukugu mu ndwadde z’omusulo, okuva ku ddwaaliro lya Uro Care Hospital e Nansana agenda kukulambikira ebintu ebirala mukaaga ebifulumira mu musulo, nga biranga endwadde na lwaki bw’olaba omusaayi olina kudduka mbiro mu basawo.
EBIRALA EBYEYOLEKA MU MUSULO NE BIRANGA ENDWADDE
1 Omusulo ogujjiramu enkwaso: Dr. Mbaaga Kigongo, annyonnyola nti, waliwo abasajja abafulumya omusulo ne gujjiramu enkwaso ekintu ky’agamba nti, kiranga nti waliwo ekikyamu.
Mu mbeera eya bulijjo, omusulo n’enkwaso tebisobola kufuluma mulundi gumu, buli kimu kifuluma ku lwakyo.
Omusulo n’enkwaso biva mu bitundu bya njawulo, naye bifulumira mu luseke lwe lumu olw’obusajja. Wabula omusajja ng’atuuse okufulumya enkwaso, omumwa gw’akawago gweggala enkwaso n’eyitawo nga tewali musulo guzeegasseemu.
Ate era omusolo bwe gujjula omusajja n’awulira ng’ayagala kufuuyisa, omumwa gw’akawago gweggula omusolo ne gufuluma.
Olwo obuzibu buva wa omusajja alyoke afuuyise omusulo ogulimu enkwaso?
l Okusookera ddala kiyinza okutuukawo ng’ebinywa by’oku mumwa gw’akawago by’aleegulukuse ne guteggala.
Kale omusajja bw’atuuka okufulumya enkwaso olw’amaanyi n’emisinde kwe zijjira, ezimu zifuluma, ate endala ne ziyingira mu kawago. Era omusajja oyo bw’atuuka mu kiseera eky’okufuuyisa, omusulo gufulumiramu enkwaso ezo ezaayingiddemu.
Okuleegulukuka kw’ebinywa by’omumwa gw’akawago kuyinza okuva ku ddagala naddala erikozesebwa okujjanjaba akatungulu k’abasajja (prostate). Wabula olulala kuva ku kulongoosebwa era okukolebwa ku bitundu by’akatungulu k’abasajja.
l Naye, abamu obuzibu buva ku butabaawo kuwuliziganya wakati w’obwongo n’ebinywa by’oku mumwa gw’akawago, ng’omusajja agenda okufuuyisa oba okufulumya enkwaso. Nga kino kiva ku busimu obwongo mwe buyisa obubaka obulagira ebinywa okuggala omumwa gw’akawago okufa, nga kiva ku nsonga ez’enjawulo.
l Wabula abamu bafulumiza enkwaso mu musulo singa oluseke byombi mwe biyita luzibikira oba okufunda enkwaso ezimu ne zisigalamu olwo bw’atuuka okufuuyisa ne bifuluma lumu.
2 Omusulo ogw’akasaayisaayi :
Akulira eby’okwekebejja abalwadde okuzuula ekibaluma ku ddwaaliro ly’e Lubaga, Dr. Alex Kisekka, omusulo ogw’akasaayisaayi gubeeramu omusaayi ekitalina kubeerawo mu mbeera eya bulijjo.
l Omusulo okubeeramu omusaayi kibeera kiraga omuntu nti, alina yinfekisoni z’omu kkubo ly’ebitundu ebiyambako mu kukola n’okufulumya omusulo (Urinary tract infections - UTI).
Mu kufulumya omusulo ogulimu omusaayi abantu abamu batera okufuna obulumi, okubalagalwa n’okusiiyibwa, era nga kino kibeerawo mu bakazi n’abasajja.
Wabula kino kyawuka ku musulo omukyala gw’afulumya ng’ali mu nsonga, kubanga olwo kitegeerekeka ng’omusaayi gw‘afulumya gwe gwegatta n’omusulo ekitalina buzibu.
l Wabula omukyala singa tabeera mu nsonga, n’afuuyisa omusulo ogulimu omusaayi, kasobola okubeera akabonero k’obulwadde bwa ‘Bilharzia’. Obuwuka obulwaza ‘Bilharzia’, buba bwakuyingira mu mubri gwo nga buyitira mu mazzi, okugeza nga wali owuga, oba wagalinnyamu nga mwebuli ne bukuyingiraate ne busibira mu nsigo ekivaako okufulumya omusaayi.
l Mu basajja okufulumya omusulo ogw’omusaayi kiraga nti, waliwo yinfekisoni y’obuwuka bwa bakitiriya obuluma ne bulya ebisenge by’ekkubo ly’omusulo ekireeta omusaayi, era omusulo bwe guyitawo nagwo guyiikamu.
l Obuvune abantu bwe bafuna okuva ku bubenje obutali bumu, oba abantu be basamba, abalwana n’ebirala, nabyo bisobola okuvaako omuntu okufuuyisa omusulo ogulimu omusaayi ng’akoseddwa.
3 Omusulo ogubeeramu
oluyinjayinja : Guno gubeera nnyo mu bantu abatalina mazzi gamala mu mubiri. Kisobola okuva ku kukola dduyiro ow’amaanyi n’otuuyana ekisusse, oba okuba n’omusujja kubanga nagwo gunyunyunta amazzi mu mubiri. Obulwadde bwa puleesa, ssukaali ne kookolo, nabyo bisobola okuvaako okufulumya omusulo ogulimu oluyinjayinja.
4 Omusulo ogulimu obutoffaali bwa ‘yeast’ (yeast cells): Guno gulaga nti, olina obulwadde bwa kandida.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});