Engeri sisitiimu empya ereeteddwa okukuba badereeva ebipapula gyegenda okuleeta obutebenkevu ku nguudo

Apr 24, 2025

NewVision Reporter
@NewVision

Akavuyo akali ku nguu- do za Uganda keer- aliikiriza buli muntu, olwa baddereeva abavugisa ekimama, abavuga endiima, abatagoberera mateeka ga ku nguudo, kwossa aba bodaboda abavuga nga bwe baagala. Embeera eno eviiriddeko obubenje obututte obulamu bw’abantu n’ok- wonoona ebidduka, saako abakozesa ekkubo okwek- yawa olw’akavuyo mwe batambulira buli lunaku. Kati embeera eno yonna eko- mye, oluvanyuma lwa Poliisi ng’eri wamu ne minisitule y’ebyentambula okuleeta tekinologiya ow’obuuma obulondoola ebidduka amanyiddwa nga ‘Intelli- gent Transport Monitoring System’ (ITMS), ng’alimu tekinologiya omulala owa EPSauto, agenda okuyam- ba poliisi okulondoola ebidduka ebimenya ama- teeka ku nguudo, babikube ebipapula by’engasi okuyita ku ssimu za bannanyini byo. Bukedde yatudde mu mboozi ey’akafubo n’akulira ebyempuliziganya mu kkampuni ya ITMS, n’anny- onnyola tekinologiya ono engeri gyagenda oku- kolamu, baddereeva bye balina okukola, n’engeri gye kigenda okuleeta obute- benkevu ku nguudo.

ITMS kye ki, era tekinologi- ya wa EPSauto agenda kukola atya okulungamya ebidduka ku nguudo?

ITMS ye tekinologiya eya- kolebwa okulondoola ebid- duka ku nguudo, n’okulaba ebyo ebimenya amateeka, okugeza okuyita ku bitaala ebimyufu nga bimugamba kuyimirira. Tekinologiya ono afuna kalonda yenna akwata ku kidduka okuyita ku nnamba yaakyo, ne bisin- dikibwa ku kitebe kya poliisi, gye bakolera ekipapula ky’engasi. Wadde nga tekinologiya wa ITMS asobola okukola ebintu ebirala bingi okugeza okukulagirira amakubo amalala singa gyoyolekera wabaayo ebizibu, essaawa eno essira liteereddwa ku kusoma nnamba z’ebid- duka, ne tekinologiya wa EPSauto, ayambako mu kukuba ekidduka engasi okusinziira ku musango gwe kiba kikoze

Lwaki poliisi yasazeewo okuleeta tekinologiya ono mu kiseera kino?

Mu nkola gye tubaddemu, omusirikale w’ebidduka y’abadde akuba ekipapula okusinziira ku musango dereeva gwaba akoze, kyo- kka enkola eno ebaddemu erimu ebirumira. Mu sisitiimu eno empya, kamera z’oku nguudo zikwata ennamba y’ekidduka ekikoze omu- sango, n’omusango gwe   kikoze, ne biweerezebwa eri poliisi okuyita mu sisitiimu eno, olwo omusirikale ali ku kompyuta n’akakasa omu- sango ogukoleddwa era n’akuba ekidduka engasi sisitiimu n’esindika obubaka ku ssimu ya nnanyini kidduka, oba ku email ye.

Sisitiimu eno tuyinza kugyesiga tutya nti engasi gyekubye ya mazima? Tesobola kulaba bubi bintu?

Ekipapula kye bakuwa kibaako kalonda yenna, okuli ekifo ekidduka we kiddizza omusango, n’eki- faananyi ky’emotoka ng’ez- za omusango. Kino kikola ku nnamba z’ebidduka zonna okuli enkadde n’empya n’ebidduka byonna omuli ne bodaboda.

Dereva asobola oku- wakanya engasi emukubiddwa, singa aba alowooza nti tekinologiya yakozeemu ensobi? Bwe kiba kisoboka, ayita mu mitendera ki?

kituufu, dereva yenna awuli- ra nga tamatidde n’engasi emukubiddwa, waddembe okugenda mu kkooti ne yekubira enduulu. Bannanyini bidduka mu- genda kubamanya mutya era mubategeeze, naddala abo abatalina email, nga ne ssimu zaabwe e mulina mu sisitiimu tebakyazikozesa? Poliisi yakoze App y’es-   simu baddereeva gye tubakubiriza okubeera nayo era baddereeva bawandiise ebikwata ku bidduka byabwe. Kino kijja kubayamba okusigala nga bafuna obubaka ku ssimu zaabwe singa ebidduka bye bavuga bibaako omusango ogubivunaanibwa.

Nkola ki ze mutaddewo okulaba nga mumanyisa abantu b’omu byalo, oba abo abali mu bitundu nga tekinologiya tannaba kubuna nnyo okulaba nga bategeera ebintu bino?

Tuli mu kukola kampeyini ez’amaanyi ez’okumanyisa abantu enkola eno empya. Mu ngeri y’emu, wadde ebintu nga kamera biri mu kitundu kya Buganda, waliwo pulaani ey’obuny- isa kamera z’okunguu- do mu bitundu ebirala eby’eggwanga okulaba nga buli omu atuukibwako. 

Poliisi biki byekoze okulaba nga ensasula y’engasi ebeera nyangu ate nga teriimu buli bwa nguzi?

sisitiimu eno ekoleddwa nga nyangu yakukozesa, ate nga ekuuma ebiwandiiko byon- na. Abasirikale abagenda okugikolako batendeked- dwa bulungi era waliwo emitendera egiyitibwamu okulaba nga ekipapula tekinafulumizibwa, ate likodi zonna zisigalamu mu sisitiimu.   Teri musirikale yenna akki- rizibwa kusangula fayiro mu sisitiimu. 

Waliwo pulaani yonna ey’okwebaza abo abasa- sula mu bwangu n’oku- bonereza abo abamenya amateeka buli kiseera?

Ye. Singa engasi tesasulwa mu ssaawa 72, oyonger- wako ebitundu 50 ku 100. Ekigendererwa kya kulaba ng’abantu basasula mu budde. Ekigendererwa ekikulu ekyenteekateeka eno kiri ki? Tugenderera okuzza empisa ku luguudo mu bannayu- ganda naddala abavuzi ba bodaboda abasinga okumenya amateeka. Eki- rala ekikulu, buli lwomenya etteeka bakukuba kipapula kipya. Okugeza, bwogaana okuyimirira ku bitaala bye Lugogo ne bakukuba eki- papula, n’okiddamu ku by’e Nakasero era nga bakukuba ekipapula ekirala.

Waliwo embeera yon- na etangira okukwata emotoka z’abantu singa wabaawo obunafu mu sisitiimu oba ensobi ekoleddwa omusirikale?

 Ye. Wadde nga sisitiimu ekolera ku tekinologiya, abasirikale bakyali bakulu nnyo mu nsonga zino, era bagenda kusigala nga bateereddwa mu bifo   ebyenjawulo ku nguudo, okwetegereza ebyo ebiba ebyetaaga okunnyonnyol- wa okw’obuntu n’okumanya embeera ebaddewo eyinza okuba nga yeviiridde- ko dereeva okumenya amatteeka, nga sisitiimu bwegenda mu maaso n’okumanyiira embeera y’enguudo za Uganda.

Kiki Poliisi kyeyagala okutuukako mu mwaka ogusooka nga ekozesa sisitiimu eno?

Twagala okwongera okumanyisa abantu n’ok- wogerezeganya nabo ku nsonga eno. Mu kiseera kino twogerezeganyizza n’aba- kulira abavuzi ba bodaboda, aba takisi, n’aba bbaasi okulaba nga ebikwata ku sisitiimu eno bongera oku- bitegeera.

Waliwo enteekateeka ez’okugaziya akatiba ka sisitiimu eno, kaleme kukoma ku kuvuga ndiima n’obutagondera bitaala?

Ye. Wadde nga mu kiseera kino essira tulitadde ku kuvuga ndiima n’obutagon- dera bitaala, mu maaso tugenda kugattamu abo abakyukira mu bifo ebitak- kirizibwa, abatambala misipi n’okusukkawo okusinziira ku ngeri abantu gye banayani- rizaamu enkola eno, n’engeri gyenakolamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});