America eyingidde mu lutalo wakati wa Rwanda ne Congo
Apr 28, 2025
AMERIKA etuuzizza Rwanda ne Democratic Republic of the Congo (DRC) ne bakkiriziganya okussa omukono ku ndagaano ekomya olutalo obutasukka May 2, 2025.

NewVision Reporter
@NewVision
AMERIKA etuuzizza Rwanda ne Democratic Republic of the Congo (DRC) ne bakkiriziganya okussa omukono ku ndagaano ekomya olutalo obutasukka May 2, 2025.
Endagaano eno egaana amawanga gombi okuwagira abayeekera abasekeeterera ensi endala.
Baminisita abavunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru okuli owa DRC, Therese Kayikwamba n’owa Rwanda Olivier Nduhungirehe be bakkiriziganyizza mu lukiiko mwe baagaanidde okwekwata mu ngalo olwatudde mu kibuga Washington DC ekya Amerika ku Lwokutaano.
Amawanga gombi gakkirizza okukola endagaano endala obutasukka May 2, ejja okubeeramu buli ggwanga obutatabaala linnaalyo awamu n’obutavujjirira bibiina by’abayeekera ebitigomya ensi endala.
Amerika yatuuzizza baminisita n’ebalaga bw’eyagala okusiga ensimbi mu kitundu ky’Obukiika kkono bwa Congo ekirimu ekyobugagga kya zzaabu. Ekitundu kino abayeekera ba M23 n’amagye ga Congo baanyinyitira okulwaniramu okuva mu January wa 2025.
Minisita wa Amerika avunaanyizibwa ku nkolagana y’amawanga, Marco Rubio, yagambye nti, ekyatuukiddwaako bukakafu nti, amawanga gombi gagenda kukomya okuwa ebyokulwanyisa ebibiina by’abayeekera, kyokka nga yeewaze okwogera ku linnya ly’abayeekera ba M23.
Abayeekera ba M23 abatigomya Gavumenti ya Congo bazze babalumiriza nga bwe bawagirwa Rwanda. Baliko ebibuga ebiwera bye bazze bawamba mu kitundu ky’Obuvanjuba mu lutalo olulese enkumi z’abantu nga bafudde n’abalala nga babundabunda.
Kaweefube wa Amerika w’ajjidde nga waakayita ennaku bbiri nga Qatar yaakamala okutuuza amawanga gombi ne bateeka omukono ku ndagaano y’okukomya olutalo.
Amerika n’ekibiina ky’Amawanga Amagatte bazze balumiriza M23 nga bw’ewagirwa Rwanda, wadde ng’ezze yeegaana ng’egamba nti, enyweza butebenkevu bwayo ereme kulumbibwa bayeekera Abahutu abalina emirandira e Congo.
Rubio yagambye nti, endagaano buli ludda lugifunamu, kuba ejja kuyamba ne Amerika yennyini okussa ssente mu by’okusima ebyobugagga by’omu ttaka n’amasannyalaze.
Omubaka wa Amerika omupya mu Afrika, Massad Boulos, gye buvuddeko yakyalirako amawanga gombi n’asaba Rwanda ekomye okuwagira abayeekera ba M23.
Okuva mu 2021, Rwanda ne Congo baakakkiriziganya okuteeka emikono ku ndagaano ezikomya okulwana emirundi mukaaga, kyokka nga zigwa butaka. Ku mulundi guno batunuuliddwa okulaba oba nga kinaateekebwa mu nkola.
No Comment