Omuzadde atutte mutabani we eyali yadduka awaka ng'ayagala emuggalire aleme kwongera kumwonoonekako na kuttibwa!

May 02, 2025

OMUSAJJA akutte mutabani we n’amutwala ku poliisi ya CPS ne yeegayirira abaserikale bamuggalire ng’amulanga okudduka awaka awatali nsonga n’atandika okwenyigira mu bikolwa ebimeya amateeka ekimusaalwa nga omuzadde.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUSAJJA akutte mutabani we n’amutwala ku poliisi ya CPS ne yeegayirira abaserikale bamuggalire ng’amulanga okudduka awaka awatali nsonga n’atandika okwenyigira mu bikolwa ebimeya amateeka ekimusaalwa nga omuzadde.

 David Lutalo omutuuze wómu Kisenyi ye yakutte mutabani we George Sserunkuuma  gw’amaze ebbanga nga talaba n’amutwala ku poliisi ya CPS oluvannyuma lwókumugwikiriza ng’alonda obucupa ku Kyaggwe Road .

 

Lutalo yagambye nti Sserunkuuma yeewaggula n’ava awaka n’akwatagana n’ebibinja by’abavubuka abagenda balonda obucupa saako okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka naddala okunyakula amasimu n’okusikambula obusawo ku bantu.

Yagambye nti tasobola kukkiriza Sserukuuma kwongera kumwonoonekako kuba yaakafiirwa abaana basatu nga bakubwa amasasi olw’okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka nga bwe yamukutte yasazeewo amutwale ku poliisi emuggalire .

Yategeezezza nti Sserunkuuma abadde azze akwatibwa poliisi enfunda eziwera nga lumu yatwalibwa mu kkooti n’ategeeza omulamuzi nga bazadde be bwe batamulabirira  ne bamuyita okubitebya  wabula omulamuzi  n’amusonyiwa.

Yagasseeko nti era Sserunkuuma yava mu kyalo gye yali asomera era ng’alina n’abamuweerera kyokka bwe yatuuka mu Kampala n’agaana okuddayo kwe kukwatagana n’ebibinja by’abavubuka ne bamuwaggula n’ataddamu kusula waka.

Yagambye nti okumutwala ku poliisi emuggalire ayagala kumutangira kuddamu okutambula n’ebibinja by’abamenyi b’amateeka by’abadde atambula nabyo

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});