Aba 'Business Network International' bajaguzza emyaka 10

May 03, 2025

Ekibiina ekigatta bannabizinesi mu ggwanga ekya 'Business Network International' kijaguza emyaka 10 egy'obuweereza mwe basitulidde bizinensi ezikunukkiriza mu 600 nga zino zikoze amagoba agali eyo mu buwumbi 200.

NewVision Reporter
@NewVision

Ekibiina ekigatta bannabizinensi mu ggwanga ekya 'Business Network International' kijaguza emyaka 10 egy'obuweereza mwe basitulidde bizinensi ezikunukkiriza mu 600 nga zino zikoze amagoba agali eyo mu buwumbi 200.

Enkola bannabizinesi bano gye bakolamu ya bukugu so ng'ate yanjawulo nnyo, okusinga bakulembeza okuyungagana ku baguzi oba ku butale obwenjawulo wano muggwanga n'okwetolola ensi yonna , eky'okulabirako nti bw'obeera mmemba waabwe tugambe nga oli mu bizinesi yaakutunda bizimbisibwa oba ekintu ekirala kyonna kitegeeza buli bwe wabaawo omuguzi yenna gwe bamanyi ali mu bwetaavu bw'ebyo by'otunda, gwe gwebasooka okuyunga ku muguzi oyo .

Mu nsisinkano ne bannamawulire ku Lwokutaano ku Protea Hotel mu Kampala eyatandikawo ekibiina kino mu ggwanga Diana Kibuuka yannyonnyode nti enkola eno yasooka kugyegomba mu mawanga amalala era bw'atyo n'apepereza banne okugitandika nga w'osomera bino tebagyejjusa olw'ebirungi enfaafa bye bagifunyeemu .

Abamu kubanabizinesi mukibiina Kya 'BNI' mu lukung'ana lw'abaamawulire e Kampala

Abamu kubanabizinesi mukibiina Kya 'BNI' mu lukung'ana lw'abaamawulire e Kampala

Yategeezeza nti bayambye bizinensi entono n'ennene okuyimirirawo ng'oggyeeko eky'okuyungagana ku bakasitoma balinamu n'emisomo egikwata ku ntambuza ya bizinensi ennungamo ,engeri y'okubalamu ebitabo n'ebirala bingi era nga kati baluubirira okulaba nga baweza bammemba 1,000 okwetoloola eggwanga era tebasosola kika kya bizinensi kasita ebeera nga yawandiisibwa ate  nga esasula emisolo .

Mark Karamira, ali mu bizinensi ya byantambula yagambye nti okusinga mu biseera bya COVID-19 enkola eno eya bizinensi yabataasa nnyo nga beeyambisa omutimbagano okunoonya obutale n'okubaguliza ku bannaabwe buli lwe waabangawo omuguzi ayagala banne kye batunda .

Dr. Steven Mugabe ng'ono ali mu byaddagala yategeezezza nti nga ayita mu nkola eno asobode okubeera nga kati takyalina bweraliikirivu bwa wa aw'okusuubula eddagala ly'akozesa mu ddwaliro lye olw'ensonga nti yeeyambisa bannabizinesi banne abali mu muyungagano guno okumutuusaako by'abeera ayagala okuva mu mawanga g'ebweru ewatali bweraliikirivu bwonna .

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});