Omugagga Kirumira ayogedde ku kufa kwa Rajiv

May 03, 2025

Ambasada wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ategeezezza nti abasuubuzi bagenda kusubwa nnyo Rajiv Ruparelia kubanga abadde alina enkolagana ennungi ng'ayita mu kitaawe Sudhir Ruparelia.

NewVision Reporter
@NewVision

Ambasada wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ategeezezza nti abasuubuzi bagenda kusubwa nnyo Rajiv Ruparelia kubanga abadde alina enkolagana ennungi ng'ayita mu kitaawe Sudhir Ruparelia.

Kirumira agasseeko nti eggwanga lyona likyali mu kiyongobero olw'okufa kwa Rajiv era mutabani we Gideon Kirumira abadde yamutegeezezza nti babadde balina embaga gyebalina okubeerako ne Rajiv kyokka ekyazzeeko nti mungu amututte.

Kirumira agambye nti Rajiv yali yakomawo mu ggwanga ku lwokuna lwa wiiki eno n'abaako byakkanyaako ne kitaawe oluvanyuma n'avuga emmotoka ye eya Rally n'agenda ku luguudo lwa Express Highway.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});