Ssaabasumba Ssemogerere agamba ensi yetaaga abakulembeze abalimu ensa
May 05, 2025
SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala His Grace Paul Ssemogerere ategeezezza nga ensi byeyetaaga obukulembeze obulimu ensa nga abasomyeko balina obuvunanyizibwa okulaba nga kino kituukirira

NewVision Reporter
@NewVision
SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala His Grace Paul Ssemogerere ategeezezza nga ensi byeyetaaga obukulembeze obulimu ensa nga abasomyeko balina obuvunanyizibwa okulaba nga kino kituukirira.
Bishop Ssemogerere bwabadde akulembeddemu mmisa y’okusabira abayizi abatikiddwa ku ssetendekero ya King Ceasor e Bunga, akuutidde abatikiddwa nti munsi eno ejjudde obukumpanya, nga abantu bayayaanira obw'enkanya, nga enguzi yeriisa enkuuli buli wamu, abasomye balina obuvunanyizibwa okulaba nga erongoka.
Bwatyo asabye abayizi okukozesa amagezi gebafunye mukusoma bakmgateko okwebuulirira mukatonda bafuule ensi ekifo ekyeyagaza.
Ssemogerere era asabye abayizi obutasosowooza malala, nsimbi ,nakulwanira bifo kubanga bigwawo wabula bagobe ku ngeri ennungamu omuli obwenkanya, okwagala nga bakolerera ensi yabwe n’obulamu bwabwe.
Abakuutidde obutesembereza mize naddala egimazeewo abavubuka ensangi zino omuli omukozesa ebiragalalagala,ebikolwa eby’obufumbo bw’ekikukujju byagambye nti bino byonoonye abaana bangi nnyo.
Asabye buli omu okusabira Eklesia mukadde kano nga batununira ani agenda okuddira paapa Francis mu bigere basobole okulonda omuntu ddala agwanidde.
Asabye abayizi era okutambulira mukitangaala nga bakola na bwenkanya,beyambise emisomo okulwanyisa obukumpanya obwabuli ngeri yonna.
No Comment