Engeri abaagalana gye mukozesa akadde akatono ke mulina okwesanyusa
May 06, 2025
ENSANGI zino, abafumbo abamu tebakyalina budde naddala ku mulembe guno ng’omwami n’omukyala buli omu akeera kugenda ku mirimu ne badda ekiro ate nga bonna bakooye. Abamu batuuka n’okumenya empagi enkulu ey’ekisenge nga bakyesogga naye nga buli omu agwa eri ekikoowukoowu obudde ne bukya nga mpaawo akutte ku munne kumujjukiza kusuulamu kaboozi akanyumira amatu g’ekisenge.

NewVision Reporter
@NewVision
ENSANGI zino, abafumbo abamu tebakyalina budde naddala ku mulembe guno ng’omwami n’omukyala buli omu akeera kugenda ku mirimu ne badda ekiro ate nga bonna bakooye. Abamu batuuka n’okumenya empagi enkulu ey’ekisenge nga bakyesogga naye nga buli omu agwa eri ekikoowukoowu obudde ne bukya nga mpaawo akutte ku munne kumujjukiza kusuulamu kaboozi akanyumira amatu g’ekisenge.
Omukugu mu nsonga z’amaka, Edith Mukisa, agamba nti singa abafumbo tebeewa budde n’okubuwa abaana abakola ffamire okutwaliza awamu, kissa obufumbo mu matigga g’okusaanawo.
Mukisa awabula nti, mu mbeera yonna, omuntu bw’obeera n’omwagalwa, olina kumuwuliza, era ng’omulaba wakati mu by’okukola ebingi. Mukisa agamba nti waliwo omufumbo abulwa obudde bw’omwagalwa we olw’ebintu ebitaliimu
a lu era nga bisobola okwewalika atere afisse akadde k’awa munne.
Mu bino mulimu;
l Okuyitiriza emikolo nga buli gubaawo agwetabako.
l Okuyitiriza emicakalo n’ebiduula nga tali na munne.
l Okulwa ku mirimu ng’ate talina ky’akola.
l atatuukira waka nga bannyuse ne baddayo amatumbibudde.
l Abamu mu butonde bwabwe tebamanyi kukwata budde nga mu bye
bakola byonna obudde bubakwata.
l Olugambo n’emboozi ezitasaana nga babikola na bantu balala.
l Emikutu emigattabantu giridde obudde bw’abaagalana bwe bandimaze
ne bannaabwe.
l Waliwo n’abasigula abafumbo ne babeeyinuza ne babamalira obudde.
Mukisa agamba nti waliwo n’ebintu ebyannamaddala
ebirya obudde bw’abafumbo
nga tebyebeereka omuli;
l Waliwo abakeera ku mirimu ate nga ne
mu kunnyuka, bakeerewa okutuuka awaka
olw’embeera z’omulimu gwe.
l Obukoowu, nabwo obutera okuva ku mirimu ekitawusa abantu olunaku
lwonna, nga tosobola kunenya munno ng’akomyeewo n’agwa ku buliri n’afuluuta n’akwerabira.
ENTAMBUZA Y’OMUKWANO WAKATI MU BUDDE OBWONGEDDE OKUFUNDA ENSANGI ZINO
1. Mukisa agamba nti awaka bwe wabaawo entambula, mutambule mwenna nga mugenda ku mirimu. Okugendera awamu kibawa akadde okunyumya ku bitwala omukwano n’amaka gammwe mu maaso.
Mu ngeri y’emu, n’abatalina mmotoka za bwannannyini, musobola okusalawo ne mulinnya entambula ey’olukale mwembi kyokka kikulu, okukigenderera nti olina okuwa munno akadde, munyumyemu kuba singa tekikolebwa, ekigendererwa
ky’okwewa obudde kiba kifa.
2. Okugatta obudde obw’okunnyuka: Muyinza okubeera nga mukolera mu
bifo bya njawulo naye nga mu kaseera ak’okunnyuka musobola okuwuliziganya ne musisinkana n’omwagalwa wo ne muddayo mwembi awaka, era ne mukozesa
kakisa ako okwongera okunyweza omukwano gwammwe. Wano era kizingiramu
n’okugatta obudde bw’ekyemisana nga muli ku mirimu gyammwe, ne mufunayo
akafo nga mu kiseera ky’ekyemisana buli omu ava gy’akolera ne musisinkana ne
mukiriira wamu okwongera okuggumiza laavu yammwe.
3. Okwefiirizaayo olunaku mu wiiki:
Wadde wiiki yonna emirimu gibeera gibatawusa, ku lw’obulungi bwa laavu yammwe
okukula n’okunnyikira, musobola okufunayo olunaku mu wiiki ne muluwaayo okubeerako mwembi ng’abaagalana nga tewali kibataataaganya.
4. Okweyambisa akadde ka wiikendi:
Emirimu bwe gibayitirirako wiiki ennamba, waakiri mukozese akakisa
k’ennaku za wiikendi musiibeko mwembi ng’abaagalana.
5. Okweyambisa akadde k’okukyalira baana ku masomero: Mu kifo ky’okuleka
baana ku ssomero, mugende mwembi. Kino kibawaayo ku kadde akalungi nga
mugenda ne mu kudda ate n’okubanyweza nga ffamire nga mutuuse ku ssomero
n’ensonga z’abaana ne muzoogerako.
6. Okweyambisa ennaku enkulu: Omwaka gubaamu ennaku enkulu nga Iddi, Paasika,
Ssekukkulu, Ameefuga n’endala ngantongole mu ggwanga lyonna. Ne zino ennaku, muyinza okuzeeyambisa okuzza omukwano gwammwe obuggya.
7. Obutaleeta mirimu gya bakama bo waka: Emirimu gye gimu ku bisinga okulya
obudde bw’abaagalana. Kojja Ssemanda agamba nti mulimu omusajja annyuka
n’adda ne laaputoopu n’akolera emirimu gy’abakama be awaka, ky’agamba nti
tekisaana nti era emirimu girina kukoma ku mulimu. “Bw’obeera osazeewo kuva
mu ofiisi, viirayo ddala, bw’odda awaka essira lisse ku mwagalwa wo ne ffamire
yo,” Kojja Ssemanda bw’agamba.
8. Okweyambisa tekinologiya n’amasimu ag’omulembe: Kojja Ssemanda agamba
nti wadde olina by’okola, osobola okusinziira
gy’oli, n’okozese eddakiika nga 2
ku 3 n’obaako obubaka obw’omukwano bw’osindikira omwagalwa wo mu ngeri yonna gy’oba osobodde ne bwe kaba kayimba akanaamusiibya ng’alina
essanyu kamuwe nga ne bw’akomawo awaka, obukoowu
abussa bbali, n’ayagala mubeereko mwembi.
9. Okunyumya akaboozi kikulu:
Kojja Ssemanda agamba nti wakati mu mbeera y’emirimu egibatawusa, mukakase nga buli kadde akatono ke mubeera mufunyeewo munyumizaamu akaboozi
ak’ekikulu. N’omukyala osobola okwetandikire omusajja
ku nsonga z’akaboozi aleme kulindanga musajja kukwetandikira.
10. Okwerondako eyeewaayo ku lwa laavu yammwe: Wakati
nga mwembi eby’okukola bbatawusa, ku mmwe kulina
okubaako eyeewaayo akole nga yingini y’omukwano
gwammwe nga bw’alaba nga unne anafuye mu bya laavu,
nga ye yeewaayo okutandikanga n’okuyiiya obuntu obugizza engulu esigale
ng’etambula.
Mukisa akomekkereza agamba nti emirimu egitawula abafumbo n’ebintu
ebirala ebitwalira obudde, tebijja kukoma wabula tulina kusalanga busazi
magezi gatusobozesa kubikola ate ng’omukwano n’amaka gaffe tetubisuuliridde.
“Oba okyalimu kwogerezeganya n’omwagalwa wo oba nga mwayingira dda obufumbo,
manya nti kye wayingira olina okukiwa obudde kuba bw’otokikola omulala ajja
kukozesa omuwaatwa ogwo apasule om-wagalwa wo, laavu n’obufumbo bwammwe bife”, Mukisa bwe yakkaatirizza ensonga y’abantu okwefiirizangayo
ku kadde ku lw’abaagalwa baabwe.Mukisa agamba nti waliwo n’ebintu ebyannamaddala ebirya obudde bw’abafumbo nga tebyebeereka omuli;
l Waliwo abakeera ku mirimu ate nga ne mu kunnyuka, bakeerewa okutuuka awaka
olw’embeera z’omulimu gwe.
l Obukoowu, nabwo obutera okuva ku mirimu ekitawusa abantu olunaku
lwonna, nga tosobola kunenya munno ng’akomyeewo n’agwa ku buliri n’afuluuta
n’akwerabira.
ENTAMBUZA Y’OMUKWANO WAKATI MU BUDDE OBWONGEDDE OKUFUNDA ENSANGI ZINO
1. Mukisa agamba nti awaka bwe wabaawo entambula, mutambule mwenna nga mugenda ku mirimu. Okugendera awamu kibawa akadde okunyumya ku bitwala omukwano n’amaka gammwe mu maaso. Mu ngeri y’emu, n’abatalina mmotoka za
bwannannyini, musobola okusalawo ne mulinnya entambula ey’olukale mwembi
kyokka kikulu, okukigenderera nti olina okuwa munno akadde, munyumyemu
kuba singa tekikolebwa, ekigendererwa ky’okwewa obudde kiba kifa.
2. Okugatta obudde obw’okunnyuka:
Muyinza okubeera nga mukolera mu bifo bya njawulo naye nga mu kaseera ak’okunnyuka musobola okuwuliziganya ne musisinkana n’omwagalwa wo ne muddayo mwembi awaka, era ne mukozesa akakisa ako okwongera okunyweza omukwano ammwe. Wano era kizingiramu n’okugatta obudde bw’ekyemisana nga muli ku mirimu gyammwe, ne mufunayo akafo nga mu kiseera ky’ekyemisana buli
omu ava gy’akolera ne musisinkana ne mukiriira wamu okwongera okuggumiza
laavu yammwe.
3. Okwefiirizaayo olunaku mu wiiki: Wadde wiiki yonna emirimu gibeera gibatawusa,
ku lw’obulungi bwa laavu yammwe okukula n’okunnyikira, musobola okufunayo
olunaku mu wiiki ne muluwaayo okubeerako mwembi ng’abaagalana nga
tewali kibataataaganya.
4. Okweyambisa akadde ka wiikendi: Emirimu bwe gibayitirirako wiiki ennamba,
waakiri mukozese akakisa k’ennaku za wiikendi musiibeko mwembi
ng’abaagalana.
5. Okweyambisa akadde k’okukyalira baana ku masomero: Mu kifo ky’okuleka
omwagalwa wo agende yekka okukyalira abaana ku ssomero, mugende mwembi.
Kino kibawaayo ku kadde akalungi nga mugenda ne mu kudda ate n’okubanyweza
nga ffamire nga mutuuse ku ssomero n’ensonga z’abaana ne muzoogerako.
6. Okweyambisa ennaku enkulu: Omwaka gubaamu ennaku enkulu nga Iddi, Paasika,
Ssekukkulu, Ameefuga n’endala ngantongole mu ggwanga lyonna. Ne zino ennaku, muyinza okuzeeyambisa okuzza omukwano gwammwe obuggya.
7. Obutaleeta mirimu gya bakama bo
waka: Emirimu gye gimu ku bisinga okulya obudde bw’abaagalana. Kojja Ssemanda agamba nti mulimu omusajja annyuka n’adda ne laaputoopu n’akolera emirimu
gy’abakama be awaka, ky’agamba nti tekisaana nti era emirimu girina kukoma
ku mulimu. “Bw’obeera osazeewo kuva mu ofiisi, viirayo ddala, bw’odda awaka
essira lisse ku mwagalwa wo ne ffamire yo,” Kojja Ssemanda bw’agamba.
8. Okweyambisa tekinologiya n’amasimu ag’omulembe: Kojja Ssemanda agamba
nti wadde olina by’okola, osobola okusinziira gy’oli, n’okozese eddakiika nga 2
ku 3 n’obaako obubaka obw’omukwano bw’osindikira omwagalwa wo mu ngeri
yonna gy’oba osobodde ne bwe kaba kayimba akanaamusiibya ng’alina essanyu kamuwe nga ne bw’akomawo awaka, obukoowu abussa bbali, n’ayagala mubeereko
mwembi.
9. Okunyumya akaboozi kikulu: Kojja Ssemanda agamba nti wakati mu mbeera y’emirimu egibatawusa, mukakase nga buli kadde akatono ke mubeera mufunyeewo
munyumizaamu akaboozi ak’ekikulu. N’omukyala, osobola okwetandikire omusajja
ku nsonga z’akaboozi aleme kulindanga musajja kukwetandikira.
10. Okwerondako eyeewaayo ku lwa laavu yammwe: Wakati nga mwembi eby’okukola
bibatawusa, ku mmwe kulina okubaako eyeewaayo akole nga yingini y’omukwano
gwammwe nga bw’alaba nga munne anafuye mu bya laavu, nga ye yeewaayo okutandikanga n’okuyiiya obuntu obugizza engulu esigale ng’etambula.
Mukisa akomekkereza agamba nti emirimu egitawula afumbo n’ebintu
ebirala ebitwalira obudde, tebijja kukoma wabula tulina kusalanga busazi
magezi gatusobozesa kubikola ate ng’omukwano n’amaka gaffe tetubisuuliridde.
“Oba okyali mu kwogerezeganya n’omwagalwa wo oba nga mwayingira dda obufumbo,
manya nti kye wayingira olina okukiwa obudde kuba bw’otokikola omulala ajja kukozesa omuwaatwa ogwo apasule omwagalwa wo, laavu n’obufumbo bwammwe bife”, Mukisa bwe yakkaatirizza ensonga y’abantu okwefiirizangayo ku kadde ku lw’abaagalwa baabwe
No Comment