Bw’olabirira omwana wo n’omwewaza endwadde
May 08, 2025
OMWANA omulamu asanyusa, kyokka kyetaagisa omuzadde okuwaayo obudde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ku ndabirira ye, mu byendya, obuyonjo, n’ebyobulamu okutwalira awamu. Kino kiyamba omwana obutakonziba ekikosaobwongo n’enkula ye

NewVision Reporter
@NewVision
OMWANA omulamu asanyusa, kyokka kyetaagisa omuzadde okuwaayo obudde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ku ndabirira ye, mu byendya, obuyonjo, n’ebyobulamu okutwalira awamu. Kino kiyamba omwana obutakonziba ekikosa
obwongo n’enkula ye.
Dr. Muzafalu Gizamba ow’eddwaaliro lya Ssanyu Hospital e Katooke annyonnyola engeri gy’olabirira omwana mu mbeera zonna n’omwewaza endwadde. Agamba nti:
Kikakata ku muzadde okuyonsa omwana okutuuka ku myezi mukaaga nga tannamuwa mmere asobole okufuna ebiriisa ebiyamba okukuuma omubiri
okugwewaza endwadde mu bujjuvu.
Bw’aweza emyezi mukaag mutandise okulya ku mmere egonda nga ensujju, akammonde, amenvu, ssupu wa mukene, ebijanjaalo, ennyama n’ebirala.
Wabula sigala ng’okyamuyonsa okutuusa waakiri ku myaka ebiri okuyamba obwongo bwe okukula.
Omusawo agamba nti, singa oliisa omwana emmere nga tannaweza myezi mukaaga,
okosa ekyenda ekibeera tekinnaguma kukyusa mmere.
Ate abaana abamu bafuna ebirogologo oba alaje.
ENDABIRIRA ENTUUFU EY’OMWANA ATUUSE OKULYA
Ku makya, omuzadde alina okukeera n’ayonsa omwana nga tannamuwa mmere yonna
ekiyamba okumuzuukusa obwongo.
Ebyokulya ebigonda nga eggi naddala enjuba, amata bya nkizo kw’ossa emmere endala erimu ebiriisa byonna ebyetaagibwa omubiri omwana asobole okukula obulungi, aleme
okulumbibwa endwadde.
KW’OLABIRA OMWANA ALWADDE
Omwana okusitula omuliro, wano aba ayokya nnyo.
Omwana atandika okukaabakaaba, okufunaembiro, okusesema, okusinda oba
okuwuuna nga yeebase, ssaako okugonda.Omwana abulwa obwagazi bw’ebyokulya
era n’okuyonka oluusi akugaana.
BW’OTAASA OMWANA OKUKOSEBWA
Dr. Muzafalu agamba nti:
Abaana balina okuliisibwa emmere ennyonjo, kino kitwaliramu n’ebintu by’ogimuweerako okugeza, essowaani, ebikopo, ennywanto n’ebirala okubikuuma
okwewala obuwuka obuyinza okubiyitiramu okumukwata.
Omuzadde alina okubyoza ne bitukula n’amazzi amayonjo ate ne sabbuuni, bwe
kiba kisoboze n’amazzi agabuguma okutta obuwuka.
Bw’oba omuweera ku nnywanto ez’eccupa, fuba okulaba ng’ozikuuma nnyonjo, ozooze mu mazzi agookya nga mayonjo ate ne sabbuuni oba okuzifumbako nga ne w’ozitereka
teziyingiramu buwuka.
Naawe omuzadde olina okuba omuyonjo, bw’oba oyonsa omwana olinaokulongoosa amabeere nga tonnayonsa mwana ne bw’aba amalirizza obutakuumira buwuka u nnywanto obulwaza omwana.
Omwana muliise emmere esaanidde ey’ebika eby’enjawulo ebirimu
ebisriisa bye yeetaaga ate mu budde.
Omuzadde olina okugoberera ennaku z’otwalirako omwana mu ddwaaliro okumugemesa okusinziira ku bbaluwa ye ey’okugema nga bw’egamba omutaase
endwadde ezisobola okugemebwa.
Oteekeddwa okwegendereza ebintu ebyokya, okugeza, amasannyalaze, essigiri,
ppaasi, amazzi agookya, enva n’emmere.
Amakelenda n’obutwa osaanye okubiteeka ewala kuba singa omwana abigwako n’abirya oba okunywa asobola okufa, oba okukosebwa mu ngeri endala.
Dr. Gizamba akuutira abazadde okuba abeegendereza eri abaana nga w’olabira embeera
eteri ya bulijjo mu nneeyis ye muddusizeewo mu ddwaaliro abasawo bamwekebejje okutaasa obulamu nga bukyali
No Comment