Ebyafaayo bya Paapa Leo XIV eyalondeddwa

May 09, 2025

KU ssaawa 12:06 eza Vatican mu za Uganda 1:06 ez’akawungeezi, omudumu gwafulumizza omukka omweru okuva mu Sistine Chapel n’ebide bya St. Peter’s Basilica ne bivuga ng’akabonero akakasa nti Paapa omupya owa 267 afuniddwa.Abantu abaabadde bakung’anidde mu kibangirizi kya St. Peter’s Square baakubye enduulu, bannadiini ne bawanika emisaalaba ate abalala ne bakaaba amaziga g’essanyu.

NewVision Reporter
@NewVision
KU ssaawa 12:06 eza Vatican mu za Uganda 1:06 ez’akawungeezi, omudumu gwafulumizza omukka omweru okuva mu Sistine Chapel n’ebide bya St. Peter’s Basilica ne bivuga ng’akabonero akakasa nti Paapa omupya owa 267 afuniddwa.
 
Abantu abaabadde bakung’anidde mu kibangirizi kya St. Peter’s Square baakubye enduulu, bannadiini ne bawanika emisaalaba ate abalala ne bakaaba amaziga g’essanyu.
 
Omukka omweru kabonero akategeeza nti Kalidinaali afunye obululu 89 ku bululu 133 obwa bakalidinaali abaalonze Paapa.
 
Kyokka kyatutte essaawa endala 1:17 okulaga Paapa eyabadde alondeddwa era nga ye Robert Prevost 69, eyalonze erinnya lya Pope Leo XIV nga ye Mumerica asoose mu byafaayo okufuuka Paapa.
 
Mu kiseera nga tebannalaga Paapa alondeddwa, nnamungi w’omuntu yakuluumulukuse nga beesogga ekibangirizi kya St. Peter’s Square. Obwedda buli dakiika waliwo abantu abayingira, kyokka nga buli omu alaba bulungi ebyabadde bigenda mu maaso olw’entimbe ennene ezaabadde ziteereddwa mu kifo.
 
Obwedda abantu bawanika bendere z’ensi ez’enjawulo ng’akabonero akalaga nti baabadde baagaliza Bakalidinaali abafa mu nsi zaabwe.
 
Waliwo abakozi ba Vatican abaalabiddwa nga bali waggulu ku bizimbe nga gye balengerera ebigenda mu maaso.
 
Obwedda buli muntu atunuulira nkaliriza mu ddirisa, Paapa we yabadde alina okuyimirira nga bamulaga ensi.
 
Abasirikale ba Vatican baayingidde ekibangirizi kya St. Peter’s Square nga bakuba bandi n’okufuuwa emirere , wamma abantu ne bafa essanyu
 
Bakalidinaali abataalondeddwa bwe baatandise okuvaayo nga bayimirira mu madirisa agali emabbali w’eddirisa omwabadde mulina okuyimirira Paapa, olwo abawagizi baabwe ne bamanya nti abaabwe tebalondeddwa.
 
Oluvannyuma Paapa Leo Leo XIV yaleeteddwa wakati mu kukuba enduulu okuva mu bantu. Yayogeddeko eri abantu n’abasaba okubeera obumu, okukuuma emirembe, okwezza obuggya mu kukkiriza, okutabagana  era n’asaba abantu okutambulira mu bigere bya Yesu Kristo era n’agaba omukisa.
 
“Neebaza nnyo Paapa Francis ne baganda bange Bakalidinaali olw’okunteekamu obwesige ne banonda okubeera omusika wa Petero era mbasuubiza okutambulira awamu nammwe nga tuli wamu nga Klezia” Paapa Leo bwe yategeezezza.  
 
Paapa yalondeddwa ku lunaku lwakubiri bukya Bakalidinaali beesogga Sistine Chapel okulonda. Paapa Francis gwe yadidde mu bigere yafa ku Mmande ya Easter nga April 21, 2025.
 
PAAPA OMUMERICA
Paapa Leo XIV ye Mumerica asoose mu byafaayo nga yakulira Chicago kyokka ng’obuweereza bwe bubadde nnyo e Peru ne Vatican.
 
Yafuulibwa Omuseserodooti mu 1982 oluvannyuma lw’okusomera mu Catholic Theological Union e Chicago gye yafunira diguli eyookubiri mu by’eddiini.
 
Ayogerwako ng’omukulembeze ow’enjawulo kyazze alagira mu nsi ez’enjawulo nga Peru ne Rome.
 
Nga tanalondebwa, abantu batono abaabadde basuubira Kalidinaali Prevost okulya olwa Paapa olw’okuba emyaka gye gyalabise ng’emito ku balala abasembyeyo okulondebwa.
 
Olwokuba nga yafuuka Bishop mu 2020 n’afuulibwa Kalidinaali mu 2023 yabadde alabibwa ng’ali wansi ba Bakalidinaali abalala.
 
Prevost alina obutuuze bwa mirundi ebiri okuli obwa America ne Peru ng’azze aweerereza mu bifo bingi ebyobuvunanyizibwa era nga yakulirako olukiiko ba Basumba e Vatican era nga yakulirako n’olukiiko olulonda Abasumba mu nsi yonna.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});