Ebirina okubeera mu nnyumba y’omu kyalo ey’okuwummuliramuennene
May 11, 2025
OLW’OMUJJUZO gw’abantu mu kibuga, buli muntu asaanidde okubeerako n’amaka g’omu kyalo gy’asobola okuwummulirako mu kifo ekisirifu nga kimuwa emirembe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
OLW’OMUJJUZO gw’abantu mu kibuga, buli muntu asaanidde okubeerako n’amaka g’omu kyalo gy’asobola okuwummulirako mu kifo ekisirifu nga kimuwa emirembe.
Okuzimba amaka g’omu kyalo kuliko ebibuuzo by’olina okusooka okulowoozaako omuli; ekifo w’ogateeka, ebirina okubeera mu nnyumba, endabirira yaago era n’obifunira eby’okuddamu ebituufu.
Muhammad Nsereko, omukubi wa pulaani owa 3M Design and Construction Company, agamba nti, amaka g’omu kyalo ag’okwewummuza gandibadde galimu kumpi buli kintu ekibeera mu wooteeri nga ekidiba ekiwugirwamu, ebimuli n’ebisanyusa ebirala.
Kyokka waliwo abazimba
amaka mu kyalo olw’ebigendererwa ebirala. okugeza, ng’alinayo ffaamu n’ateekayo ennyumba gy’anaasulamu. Waliwo abalina abakyala abangi ne yeesanga ng’abamu abatadde mu kyalo.
EBIRINA OKUBA MU MAKA G’OMU KYALO
Nsereko agamba nti, omuntu azimba amaka g’okwewummuza ng’ekigendere-rwa kya kuva mu leebuleebu w’ekibuga, gasaana okubeera mu kifo ekigazi ekirungi obulungi. Wano obeera osobola okuzimbako ennyumbaey’okuwummuliramuennene, okulimirako awamu n’okulundirakoEnnyumba yennyini yeetaaga okubeera ennene ekimala ng’abaana tebagabana nnyo bisenge. Ku muntu alina obusobozi kwandibaddeko emizigo ebbali okusula abagenyi n’abakozi b’awaka mwenna ne muteenyiga mu nnyumba nnene. Oluggya n’omuddo bisaana okuba nga bitwala ekifo ekiwera.
Kisaanidde okubeerako n’ennyumba endala ebbali omusula abapakasi, mwe mutereka ebintu oba mw’osobola okusuza abantu abakuzira mu nnyumba ennene. Okugeza mutabani bw’aba yatambudde ne mukamwana, omwo mwe basula.
Ekifo kyennyini kyandibadde kiri mu mbeera ekusobozesa okulengera ebintu ebiri ewala, okugeza; emigga, ebibira, ensuku n’ebintu by’obutonde ebirala ebyesudde.
By’ogenda okuteeka ku maka, birina okuba nga tebitaataaganya mirembe gya baliraanwa b’osanze ku kyalo. Ne bw’oba olina obusobozi si kirungi kuleeta bidongo buli kaseera n’obiwogganya. Bwe kiba tekyewalika olumu, kakasa ng’oyita baliraanwa abamu mucakalire wamu.
Olw’okuba oli mugenyi kirungi okunyweza ebyokwerinda byo ng’ozimba bbuggwe okwetooloola ettaka lyo. Okugeza zimba ekisenge oba okusiba sseng’enge okwetooloola ekibanja kyo si kulwa ng’ebisolo bitoloka ne byonoona ebintu by’abatuuze b’osanze mu kitundu.
Ekisinga obukulu amaka gasaana okubeera mu kifo ky’owuliriramu emirembe kuba ky’osinga okwetaaga.
Ebintu by’olina okulowoozaako
EKIFO amaka we galina okuzimbibwa waliwo abalowooza nti, gandibadde mu kitundu gye bakuzaala ne kiba nga kikwanguyira ne bwe waba wabaddewo obuzibu ng’okufiirwa oba embaga tobulwa w’osula.
Ekyokubiri, kikuyamba n’okunyweza enkolagana n’abantu b’ekitundu era kikwanguyira okuddayo n’otomala bbanga ddene.
Omuntu bw’abeera ng’alina ekirowoozo ky’ebyobufuzi ng’asuubira okwesimbawo ku bifo by’obukulembeze, kyandibadde kirungi amaka n’agateeka mu kitundu ekyo kyennyini gy’asuubira okwesimba.
Kyokka ate mulimu abalowooza nti, embeera y’entalo ezitera okubeera mu ffamire n’empalana z’ebyalo, kyandibadde kirungi amaka ne gabeera mu kitundu ekirala ekyesuddeko okuva we bakuzaala.
Bw’oba olina ekigendererwa ky’okulimirako kirungi okunoonya ettaka eggimu. Kinyuma nnyo okuva mu kyalo nga weetisse emmere.
Olw’okuba awaka tobeerawo kirungi okufunirawo omuntu omwesigwa gw’olekawo. Obuvunaanyizibwa bwe alina okuggula ebisenge n’asiimuulamu bulungi n’okulongoosa si kulya ng’ennyumba ejjulamu nnabbubi.
Ebitundu bingi mu byalo birina ekizibu ky’amazzi era osaana okunoonya w’ogaggya aweesigika. Osobola okufuna abasima oluzzilw’omu ttaka oba ttanka ennene ne zikuwonya okutaataagana.
Lowooza nnyo ku masannyalaze kibanguyize okufuna ekitangaala n’okufumbirako. Ekitundu ne bwe kiba kirina amasannyalaze ga UEDCL, kirungi okufuna ag’enjuba (solar) kuba amasannyalaze g’omu kyalo gamanyi okumala ebbanga nga tegaliiko.
Kirungi okukola entegeka z’okukola ekkubo erituuka w’oli bwe liba teriri mu mbeera nnungi.
Emirundi mingi amakubo g’omu kyalo gabeera gavunaanyizibwako ggombolola ezitalina busobozi bwa ssente. Bw’oba osobola kirungi okwekolera ekkubo ku lw’obulungi bwo.
Mu kunoonya w’ozimba osaana okufuna ekifo gy’otogenda kwejjusa ate ng’omaze okuzimba okugeza ettaka okuli; enkaayana, ekitundu ekirimu abayinza okukumalako era kyetaaga okunoonyereza ennyo ku mbeera z’abantu abali mu kitundu baleme kukoma ku kya kuzuula bwannannyini ttaka. Embeera z’abantu abamu zisobola okumalako emirembe
No Comment