Namulindwa atutte eyali muganzi we Kanyike mu kkooti lwa butamuwasa
May 12, 2025
MUNNAMAWULIRE Mary Flavia Namulindwa atutte taata w’omwana we mu kkooti ng’ayagala amuliyirire lwa kumusuubiza bufumbo n’atamuwasa.

NewVision Reporter
@NewVision
MUNNAMAWULIRE Mary Flavia Namulindwa atutte taata w’omwana we mu kkooti ng’ayagala amuliyirire lwa kumusuubiza bufumbo n’atamuwasa.
Mu mpaaba gye yatadde mu kkooti enkulu ekola ku nsonga z’amaka e Wandegeya, Namulindwa agamba omusajja gwe yazaalamu omwana ayitibwa Charles Kanyike Mpagi yamumalira ebiseera ng’amulimby okumuwasa kyokka n’amala n’amwefuulira n’amugoba mu nnyumba ze yeezimbira ku ssente ze.
Namulindwa yayise mu bannamateeka ba Kizito Lumu and Company Advocates n’asaba kkooti ekugire Kanyike n’abantu be bonna oba n abakola ku lulwe obutaddamu kusaalimbira mu maka ge agasangibwa mu Kinoonya Zooni e Masanafu mu Lubaga.
Yagambye nti yasisinkana Kanyike mu 2008 bwe yali akyasoma n’amuperereza okumala akaseera okutuusa lwe yakkiriza ne baagalana. Mu kiseera ekyo Namulindwa yategeeza
Kanyike nga bwe yali tayagala kubeera ku muzigo, n’amusaba amufunire amaka agage.
Baatandika okubeera bonna nga abaagalana mu 2009, mu maka ge bakaayanira agasangibwa e Masanafu awaali ennyumba y’ebisenge ebibiri okutuusa lwe baafuna omwana waabwe asooka eyafa mu 2012. Ng’amaze okuzaala, Kanyike
yamutegeeza nga bw’ali omukyala omulungi era n’amusuubiza okumuwasa babeere bonna mu bulamu bwe basigazza ku nsi era n’amuwa ettaka lye yamukkiriza okukulaakulanya. Okuva olwo, abadde y’alabirira ettaka eryo n’azimbako ennyumba
endala bbiri ez’abapangisa ku ssente ze nga Kanyike tataddeeko wadde 100. Baazaala omwana waabwe owookubiri nga July 31, 2023 era teyaddamu kufuna buyambi bwonna wa Kanyike.
Oluvannyuma Namulindwa yakizuula nga Kanyike bwe yalina abakazi abalala b’apepeya nabo, ye kye yakola n’asigala mu nju yekka nga ssente z’aggya mu nnyumba
z’abapangisa ze zibalabirira omuli okusasula amasanyalaze, amazzi n’ebyetaago
ebirala.
Namulindwa agamba mu 2023, Kanyike yatandika okumulumba ng’ayagala bagabane ssente eziva mu nnyumba z’abapangisa ekintu kye yagaana.
Nga May 29, 2024 yamuleetera ebbaluwa emugobera ddala mu nju.
Mbu Kanyike yagattako okwegaana omwana waabwe wadde nga waliwo ebyava mu musaayi okuva mu ddwaaliro e Nakasero ebikakasa nti omwana wuwe. Ebikolwa
bya Kanyike omuli okuwuddiisa n’okulimba obufumbo, Namulindwa agamba bimenya mateeka. Amaka bombi ge bakaayanira gabalirirwamu obukadde 200 mu kiseera kino.
Namulindwa ayagala kkooti emukakase nti ye nnannyini maka gano
ISLAMABAD/NEW DELHI
OLUTALO wakati wa Buyindi ne Pakistan lusitudde buto nga waakayita essaawa mbale
bubazi ng’enjuyi zombi zitudde ne Pulezidenti wa America, Donald Trump ne bakkaanya okuluyimiriza.
Akatuubagiro kano akaatandika ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, Buyindi etere ekube mu bibuga bya Pakistan munaana, ne Pakistan n’ekuba
ennonyi za Buyindi ttaano (5) lwabadde lutandise okufuuka nnamulanda.
Pakisitan yakubye ebimu ku bitundu bya Buyindi mu Kashmir kye bakaayanira mu kiro
ekyakeesezza Olwomukaaga.
Olw’okwewala olutalo olw’amaanyi wakati w’ensi zino zombi ezirina ne nukiriya,
Pulezidenti Trump yasazeewo okubiyingiramu n’ayogera ne Bakatikkiro b’ensi zino zombi mu lukiiko mwe bakkaanyirizza okuyimiriza olutalo era Tramp olwavudde mu lukiiko n’alangirira eri ensi yonna nga bw’akulembeddemu okukkakkanya
obunkenke obubaddewo.
Trump era yeeyamye okusigala ng’ayogerezeganya n’ensi zombi, okulaba nga banogera
eddagala enkaayana z’ekitundu kya Kashmir ezimaze emyaka n’ebisiibo.
Kyokka bwagenze okukya ku Ssande nga zivuga. Ebikompola, mizayiro n’okwesindikira ennyonyi ezeevuga zokka bye byabaddeyo nga buli ggwanga lyagala
okulaga linnaalyo eryanyi.
Buyindi ne Pakistan buli omu anenya munne okuva ku bye bakkaanyizzaako ne Trump.
Omukutu gw’amawulire ogwa AFP gwategeezezza nti okulwanagana kwa Ssande nga bukya okwabadde e Kashmir ne mu bitundu ebiriraanye ensalo z’ensi zombi kwafiiriddemu abantu abasukka mu 60, abasukka mu 200 ne bafuna ebisago ssaako abasoba mu 600 okwamuka amayumba gaabwe bawone kibabu ekyatutte essaawa nga
ssatu (3).
Wabula kizibu okumanya kiki amawanga gombi kye gazzaako ku by’enzikiriziganya gye
baabadde batuuseeko ne Trump oba ng’enessibwamu ekitiibwa oba nedda era obunkenke obw’amaanyi bukyaliwo kuba buli omu atiisatiisa. era egaane Kanyike obutaddamu kugasaalimbirako wadde abantu be. Bwe kitaba ekyo amusasule ssente ezigya mu nnyumba ze yazimba era amuddize ssente zonna z’atadde mu kuwoza omusango guno. Omuwandiisi wa kkooti yalagidde Kanyike okussaamu okwewozaako kwe mu nnaku 15 annyonnyole lwaki yalimba Namulindwa obufumbo ate n’asigala
ng’amutaataaganya mu maka mw’abeera
No Comment