Hoima Stadium bassaamu butebe
May 13, 2025
EKISAAWE ky'e Hoima, ekimu ku bisatu (3) ebigenda okuzannyirwamu AFCON ya 2027 kitandise okuserekebwa waggulu n'okukissaamu obutebe.

NewVision Reporter
@NewVision
EKISAAWE ky'e Hoima, ekimu ku bisatu (3) ebigenda okuzannyirwamu AFCON ya 2027 kitandise okuserekebwa waggulu n'okukissaamu obutebe.
Minisita w'Ebyemizannyo, Peter Ogwang yakakasizza nti kkampuni ya SUMMA Construction ejja kukiggyako engalo ekikwase gavumenti mu butongole
nga December 20 omwaka guno.
Kino kyaddiridde minisita okulambula ekisaawe kino ku Lwomukaaga n'asanga ng'omulimu aba SUMMA bagutambuza bukwakku.
Hoima Stadium, Akii Bua Stadium ey'e Lira ne Mandela Stadium e Namboole bye
bisaawe ebigenda okukozesebwa mu AFCON ya 2027 egenda okutegekwa Uganda, Kenya ne Tanzania.
Hoima Stadium kyakutuuza abantu 20,000 nga kyabalirirwa okuwemmenta doola obukadde 130 (eza Uganda obuwumbi 482). Minisita Ogwang yawerekeddwaako
sentebe w'akakiiko akafuga emizannyo mu ggwanga (National Council of Sports, NCS), Ambrose Tashobya, ssaabawandiisi wa NCS, Dr. Patrick Ogwel, pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo n'abakungu abalala okuva mu minisitule y'Ebyenjigiriza
n'Emizannyo.
Ng’oggyeeko okukisereka n'okussaamu obutebe, aba Summa batandise okuzimba ebifo awatuula abakungu (VIP), okusimba omuddo ekika kya Hybrid ogwatekebwa e Nambole,
n’okukizimbako ebisaawe by’emizannyo emirala okuli basketball, volleyball, emisinde
No Comment