ziganyegenyaOmumyuka wa RCC Lira attiddwa mu bukambwe

May 13, 2025

OMUMYUKA wa RCC mu kibuga Lira, Karim Mwase 35, attidwa mu bukwambwe omulambo ne bagusuula ku kkubo.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUMYUKA wa RCC mu kibuga Lira, Karim Mwase 35, attidwa mu bukwambwe omulambo ne bagusuula ku kkubo.
Omulambo gwa Mwase gwasangiddwa mu kiro ekyakeesezza olwa Ssande ku kyalo Nakalama ku kkubo eriva e Iganga okudda e Bugweri.
Gwasangiddwa mu luwonko awaabadde mmotoka ekika kya Sienta nnamba UBH449L gye yabadde avuga.
Omumyuka wa RDC w’e Bugweri Nasser Kakaire eyamwazise emmotoka eno agambye nti, yakubidde omugenzi essimu akawungeezi nga tagikwata, wabula oluvannyuma waliwo eyagikutte n‘amutegeeza bwe bafunye obuzibu e Nakalama kwe kugendayo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro. Nti emmotoka yagisanze
ku mabbali g’oluguu-do wabula nga temuli kisumuluzo era nga temuli muntu.
Yakubidde aba kasiiringi ( break down) okugiggyawo, wabula baba bagiggyawo kwe kulaba omulambo gwa Mwase mu luwonko ku ludda olulala nga baamukubye mu maaso ng’avaamu omusaayi.
Omwogezi wa poliisi mukitundu kya East Busoga Michael Kafayo yagambye nti baafunye amawulire g‘okufa kwa Mwase ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ne basitukiramu okutuuka mu kifo awaabadde omulambo.
Poliisi yazze n’embwa ekonga olusu wabula yatambuddeko kiromita ng’emu n’eremwa okuzuula abatemu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});