Bannamwandu ba Ssegirinya batabuse ne nnyazaala lwa mmaali

May 13, 2025

BANNAMWANDU basatu ab’eyaliko omubaka wa Kawempe North, Mohammad Segirinya basitudde olutalo ku nnyazaala waabwe, Justine Bakajumba ngabamulanga okubalemesa okuganyulwa ku mmaali ya bbaabwe era taata w’abaana.

NewVision Reporter
@NewVision

BANNAMWANDU basatu ab’eyaliko omubaka wa Kawempe North, Mohammad Segirinya basitudde olutalo ku nnyazaala waabwe, Justine Bakajumba nga
bamulanga okubalemesa okuganyulwa ku mmaali ya bbaabwe era taata w’abaana.
Ensonga baaziyingizzaamu n’omubaka, Medard Lubega Seggona (Busiro East) nga bagamba nti akukuta ne nnyazaala waabwe okubalemesa.
Abasatu abaavuddeyo kuliko; Mariam Nakabuye 34, omutuuze w’e Kigoogwa, Joyce Nalule 32, ow’e Matugga mu divizoni y’e Gombe ne Fatumah Nanfuka 35, ng’ono w’e Kasangati era nga y’amanyiddwa nga maama Nagirinya.
Bannamwandu bano baagambye nti okuva bbaabwe Segirinya bwe yafa bangi baabasuubiza okulabirira abaana naye batono abakituukirizza.
Baasangiddwa Matugga mu divizoni y’e Gombe mu Nansana munisipaali ne balombojjam engeri gye bali mu kusoberwa olw’obutafiibwako, sso nga bbaabwe alina ebintu bye yaleka ebivaamu ssente. Nakabuye yagambye Ssegirinya yaleka ebintu bye naye mu kaseera kano abantu abamu ababirimu bagamba nti omugenzi yafa bamubanja.
Yagambye nti omugenzi yaleka amayumba g’abapangisa e Lubowa ssaako amaka e Bulamu mu Kasangati Town Council naye byonna baabiwamba nga bagamba nti omugenzi baali bamubanja.
Yagasseeko nti baali basibidde ku ambyulensi gye yali yagula kyokka mu kaseera kano eri mu maka g’omubaka Seggona we yagipaakinga nga baagala eveeyo edde mu mikono gyabwe ekole nga omubaka bwe yali akyagala.
Ate Nanfuka yagambye nti, ekisinga okubeewuunyisa be bantu abalina eby’obugagga bya Segirinya.
Yagasseeko nti nnyazaala waabwe Nakajumba yabagamba nti tebayinza kubaako kintu kyonna kye baatwala kuba omugenzi yalina abaana abalala abasoba mu
10 nga bali bweru wa ggwanga kye bagamba nti si kituufu.
Yagambye nti abaana bonna abaaleetebwa baggyibwako DNA naye n’okutuusa kati tebafunanga byazuulibwa.
Nalule yagambye nti, Ssegirinya bwe yafa Palamenti yabasuubiza ssente kyokka tebazirabangako, wabula nti omubaka Seggona yabagamba nti balina kugumiikiriza.
Nalule yagasseeko nti bwe baalimu lukiiko n’abamu ku baffamire, omubaka Seggona yategeeza nga ssente bwe yazikwata nga bakyalina bye balina okumaliriza.
Era beewuunya lwaki bwe baali balonda ba Administrator ku bintu by’omugenzi ne batalonda mwana wa Ssegirinya oba mukyala we nga n’owa ffamire bassaako omuntu
omu yekka. Beebazizza Sipiika olw’okutuukiriza obweyaamo bwe n’aweerera Nagirinya kyokka ne bamusaba okubasisinkana.
SEGGONA AYOGEDDE
Omubaka Merdard Lubega Seggona yagambye nti bakyala ba Ssegirinya bandibadde bamwe-baza ku mulimu gw’abakoledde kuba mu mateeka Segirinya teyalina namwandu kuba teyabawasa.
Yagambye nti mu lukiiko lwa ffamire bakkaanya ne balonda abantu abagenda okufuna
obuyinza mu kkooti ku bintu by’omugenzi era enteekateeka egenda mu maaso.
“Segirinya teyaleka kiraamo, balina okusooka okuyita ewa Administrator General gye bali mu kaseera kano era ne mu lukiiko bakkaanya abaana ba Ssegirinya bonna okubakolako DNA ekintu ekyakolebwa nga kati balindirira bivaayo,” Seggona bwe yagambye.
Yagambye nti baali tebasobola kussaako mukyala oba mwanaku bwa Administrator,  kubanga teyalina mukyala mutongole ate nga n’abaana tekuli aweza myaka 18. Ku bya ambyulensi, yagambye nti, talina buzibu oba baagala okugiggya ewuwe kubanga bo
bennyini be baamusaba agitereke nti waliwo baali baagala okugitunda.
Yagambye nti by’akola ayamba nga mukwano gw’omugenzi eyali looya we obutaleka bintu mu bbanga okudobonkana nga ne ssente ze bagamba nti ziri mu Palamenti si ny’azivunaanyizibwaako. Ye maama wa Segirinya bwe twamukubidde essimu olwategedde nti byamawulire n’agiggyako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});