Ebitutte Sudhir owaafi ira mutabani we
May 14, 2025
NAGGAGGA Sudhir Ruparelia yeesitudde ne ffamire ye ne bagenda ku nkulungo y’eBusaabala ku luguudo lwa Kajjansi - Munyonyo Expresswaym akabenje ddekabusa we kaatugira mutabani we Rajiv Raparelia mu ntiisa, omwana omulenzi omu yekka gw’abadde alina ku nsi!.

NewVision Reporter
@NewVision
NAGGAGGA Sudhir Ruparelia yeesitudde ne ffamire ye ne bagenda ku nkulungo y’e
Busaabala ku luguudo lwa Kajjansi - Munyonyo Expresswaym akabenje ddekabusa we kaatugira mutabani we Rajiv Raparelia mu ntiisa, omwana omulenzi omu yekka gw’abadde alina ku nsi!.
Sudhir n’aba ffamire ye okwabadde mukyala we, Jyostna Ruparelia, bawala baabwe
Meera ne Sheena Ruparelia gattako ne Naiya Ruparelia Nnamwandu wa Rajiv ne bebbi waabwe, Inara Ruparelia ow’emyaka 3 baatuuse ku nkulungo mu luseregende lwa
mmotoka zonna nga njeru era nga nabo bambadde byeru ebitukula nga omuzira.
Okusinziira ku baabaddewo ku Mmande, baalabye olunyiriri lwa mmotoka ensajja ezaabadde mu kkumi nga ziva e Munyonyo ne zeetooloola enkulungo ku ttaawo eridda e Busaabala oluvannyuma ne zigenda ku kifo kyennyini mmotoka ekika kya Nissan
GTR nnamba UAT 638 L we yatugira Rajiv n’emutta mu ntiisa ku myaka 35 gyokka.
Lipoota ya poliisi yalaga nti akabenje akatta Rajiv kaagwawo ku ssaawa 7:54 ez’ekiro ekyakeesa Olwomukaaga nga May 3, 2025.Mmotoka yatomera ebiseminti ebyassibwa mu luguudo aba kkampuni ya China State Construction Engineering Corporation eyaweebwa omulimu gwa Najjanankumbi – Busabala Road Upgrade Project, abaali baasuulawo omulimu nga babanja Gavumenti.
Omuvuzi wa bodaboda, Bashir Kaweesi omu ku baabaddewo gamba zaabadde mu ssaawa 5:00 ez’oku makya, Sudhir ne famire ye ne batuuka mu lunyiriri lw’emmotoka eziva e Munyonyo ne zisooka okwetooloola enkulungo y’ettaawo oluvannyuma
abantu ne bavaamu okugenda Rajiv we yafi ira.
Kaweesi yagambye nti Sudhir n’aba famire ye baavudde mu mmotoka ne batambuza ebigere okuva ku nkulungo nga bakutte ebimuli ne babiwummuza mu kifo kyennyini, baamazeewo essaawa emu nga balina bye boogera.
“Sudhir yabadde muyongobevu nnyo ng’atunuza nnyiike era n’okutambula ng’olaba omusajja ali mu nnaku etagambika, era bwe yabadde agenda yabadde yeerabidde n’emmotoka mwe yajjidde, mukyala we yamukonyeeko n’amulaga emmotoka ye era n’alinda nga bambi alabika tabitegeera,” Kaweesi bwe yabuulidde Bukedde. Owa bodaboda omulala, Fahad Oboth yagambye nti Sudhir n’aba famire ye ebbanga lye
baamaze mu kifo Rajiv we yafi ira baalabise nga baabadde mu kaseera ak’okusabira Rajiv era baagaanyi abantu okubataataaganya era tebakkirizza bannamawulire
No Comment