DP eronze olukiiko lwa Busiro South
May 14, 2025
ABAWAGIZI ba DP okuva mu disitulikiti y’e Busiro balonze abakulembeze 20 n’abakiise babiri abagenda okwetaba mu ttabamiruka agenda okutuula e Mbarara ku nkomerero y’omwezi guno nga May 30, 2025.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAWAGIZI ba DP okuva mu disitulikiti y’e Busiro balonze abakulembeze 20 n’abakiise babiri abagenda okwetaba mu ttabamiruka agenda okutuula e Mbarara ku nkomerero y’omwezi guno nga May 30, 2025.
Okulonda kwabadde Kasanje mu Busiro South naye nga baasooka kulonda ku byalo ne bajjuza ebifo okuli; ssentebe wa disitulikiti, omumyuka we, owebyensimbi,
omuwandiisi n’ebifo ebirala. Okulonda kwakubuliziddwa Tinah Walugembe nga ye mwogezi w’ekibiina kya DP mu Wakiso. Baagenze okumaliriza okulonda
nga Kigumbo Galiwango y’alangiriddwa nga ssentebe nga yafunye obululu 47, n’amyukibwa Dissan Kasujja eyafunye 37. Omuwandiisi ye Paul Nsubuga
ataavuganyizibwa ate abakiise mu ttabamiruka ye Kigumbo Galiwango ne Ronald Kasirye.
No Comment