Mr Lee owa B2C acanze abawala mu kivvulu
May 14, 2025
RICHARD Mugisha, amanyiddwa nga Mr Lee omuyimbi wa B2C, mu basajja oyinza okumuyita emmekete. Bwe yabadde ku kivvulu kyabwe ku wooteeri Africana, yavuddewo abantu bamunyeenyeza mutwe, olw’engeri gye yacanzeemu abakazi 3 omulundi gumu.

NewVision Reporter
@NewVision
RICHARD Mugisha, amanyiddwa nga Mr Lee omuyimbi wa B2C, mu basajja oyinza okumuyita emmekete. Bwe yabadde ku kivvulu kyabwe ku wooteeri Africana, yavuddewo abantu bamunyeenyeza mutwe, olw’engeri gye yacanzeemu abakazi 3 omulundi gumu. Ng’oggyeeko omukozi w’oku ttivvi emu, abantu gwe balumiriza nti ali mu laavu naye, waabaddewo n’omukyala omulala eyamubadde ku lusegere kwossa omuwala enzaalwa ye’ Sudan bakira abamuyooyoota ng’agenda ku siteegi.
Mu kisenge mwe baakyusirizza engoye, abawala bano bonsatule bakira buli omu afaayo eby’ensusso era banne ba Mr Lee ne bamuwa n’erinnya ly’Ekisiraamu, abakkirizibwa okubeera n’abakyala abasukka mu omu.
Kyokka ku lunaku lwa bamaama olwabaddewo ku Ssande, Mr Lee, yasinzidde ku mitimbagano n’awanikayo ekifaananyi kya Agnes Kirabo Nantongo, omubaka mu Palamenti akiikirira abavubuka mbu ono amulinamu omwana era abamu ne babitebya nti yakikoze kwetonda, olw’ebyo ebyabaddewo mu kivvulu
No Comment