Nambi ayongedde abajulizi mu gwe yawawaabira Nalukoola
May 15, 2025
HAJAT Faridah Nambi ayongedde okuleeta abajulizi okulumiriza omubaka Elias Luyimbaazi Nalukoola nti yeenyigira mu kubba akalulu mu kulonda kw’omubaka wa Kawempe North. Eggulo abajulizi mukaaga be baawadde obujulizi mu musango guno era bannamateeka ba Nalukoola ne babasoya kajjojijjoji w’ebibuuzo.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
HAJAT Faridah Nambi ayongedde okuleeta abajulizi okulumiriza omubaka Elias Luyimbaazi Nalukoola nti yeenyigira mu kubba akalulu mu kulonda kw’omubaka wa Kawempe North. Eggulo abajulizi mukaaga be baawadde obujulizi mu musango guno era bannamateeka ba Nalukoola ne babasoya kajjojijjoji w’ebibuuzo.
Omu ku bajulizi, Margret Nabukenya yasanze akaseera akazibu okumatiza balooya ba Nalukoola.
Ono yali ajenti wa Nambi e Mpereerwe nga yategeezezza kkooti bwe yalaba kkansala Ritah Nabakooza owa NUP ng’agaba omunnyo, ssabbuuni, amajaani n’ebintu ng’abiwa Mary Kibuuka. Looya wa Nalukoola yasabye kkooti eragire Namatovu okuleeta essimu gye yakubisa Nabakooza ebifaananyi ng’agaba ebintu bino.
Wadde looya wa Nambi, Ahmed Kalule kino abadde kiwakanya wabula omulamuzi
alagidde Nabukenya aleete essimu eyo.
Nabukenya bwe yakomyeewo mu kkooti essimu teyagireese n’ategeeza nti bba yagenze nayo ku mulimu. Abajulizi abalala kubaddeko;
Saliva Niwamanya naye alumiriza Nalukoola nga bwe yakuba kampeyini ku lunaku lw’okulonda nga baali mu kifo ekironderwamu e Kazo -Angola, ekimenya amateeka g’okulonda.
Wabula bwe bamubuuzizza oba alina obukakafu n’agamba nti tubulina. Omujulizi omulala Solomon Wanjala yategeezezza kkooti nti amanyi Nambi yawangula
akalulu kano wabula obululu bwe ne bubbibwa, kyokka bwe bamubuuzizza omuwendo gw’obululu obwabbibwa n’agamba nti tabumanyi. Omusango guli mu maaso g’Omulamuzi Bernard Namanya owa Kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’engassi
No Comment