Akwatiddwa ku bya bba eyafudde

May 16, 2025

POLIISI y’e Nateete ekutte omukazi agiyambeko mu kunoonyereza ku ngeri bba gye yafudde.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

POLIISI y’e Nateete ekutte omukazi agiyambeko mu kunoonyereza ku ngeri bba gye yafudde.
Patricia Ssuuna ye yakwatiddwa ekitongole kya poliisi ekikola ku buzzi bw’emisango oluvannyuma lwa bba Robert Mukwaya okufa mu ngeri abaffamire gye bagamba nti tebaamatidde.
Mukwaya abadde musuubuzi wa ttaka n’amayumba nga kw’abadde agatta okusuubula engatto.
Abafumbo bano babadde babeera Katale - Bugema ekisangibwa mu Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso, nga balina abaana babiri okuli n’owemyezi etaano.
Ssuuna abapoliisi bamuggye mu maka ga nnyina e Kinaawa, era okukwatibwa poliisi yasoose kukwata nnyina kwe kubatuusa ku muwala we nga bombi bakuumibwa ku poliisi e Nateete.
Mukwaya yafudde mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga oluwedde. Omu ku booluganda, Ronnie Bugembe eyasangiddwa ku poliisi e Nateete yategeezezza Bukedde nti Ssuuna yamukubidde essimu ku ssaawa 10:00 ez’ekiro n’amutegeeza nti Mukwaya ayabise omutima n’atwalibwa mu ddwaaliro lya Doctor’s Clinic e Sseguku ng’ali mu mbeera mbi.
Kigambibwa nti Mukwaya bwe baamutuusa mu ddwaaliro abasawo baategeeza nti yabadde amaze okufa, olwo Ssuuna n’afuna ambyulensi eyatwala omulambo e Mulago.
Bugembe yagasseeko nti bwe baamutegeeza nti muganda we ali mu mbeera embi yalinnya boda n’atuuka awaka e Katale, wabula n’asanga ng’ennyumba ejjudde omusaayi, ogwali gusammuse okutuuka ku siiringi y’omu ddiiro, ekyabaleetera ebibuuzo ku ngeri omuntu waabwe gye yafudde.
Omugenzi yaziikiddwa ku Mmande e Buwama – Majja mu disitulikiti y’e Mpigi, wabula nnamwandu Ssuuna abaffamire ya bba baamutabukidde era tebaamuganyizza kuziika.
Ku Lwokusatu, abaffamire ya Mukwaya baaloopye omusango ku poliisi e Nateete nga baagala Ssuuna akwatibwe ayambeko mu kunoonyereza ekyasse bba.
Poliisi y’e Nateete yakwataganye n’eye Mulago okuzuula ebyava mu kwekebeggya omulambo era ebbaluwa y’abasawo eyaleeteddwa ku poliisi e Nateete ku Lwokusatu yalaze nti omugenzi waliwo ekintu ekyamukubwa ku mutwe nga tannafa.
Mukwaya abadde n’abakazi babiri okuli Patricia Ssuuna ne Winnie Nantongo gw’alinamu abaana babiri. Ssuuna
y’abadde mukyala muto era gwe yawasa empeta mu 2019 oluvannyuma lw’okumwanjula.
Ssentebe wa LCI ow’ekyalo Katale Bugema abafumbo bano gye babadde babeera, Hajji Musa Muyingo yategeezezza nti waliwo omutuuze eyamukubira essimu ng’amutegeeza nga Mukwaya bw’ayabise omutima, kwe kutuuka mu maka n’asanga nga mu nnyumba mulimu omusaayi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});