Msgr Kalumba ajaguzza emyaka 50 mu busaseredooti

May 20, 2025

Bwanamukulu w’ekigo kya Yezu Kabaka mu Kampala, Munsennyooli Gerald Majella Kitatta Kalumba ajaguzza emyaka 50 mu Busaserdooti. Mmisa ey’okwebaza y’abadde mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, ku Lwomukaaga (nga May 17, 2025).

NewVision Reporter
@NewVision

Bwanamukulu w’ekigo kya Yezu Kabaka mu Kampala, Munsennyooli Gerald Majella Kitatta Kalumba ajaguzza emyaka 50 mu Busaserdooti. Mmisa ey’okwebaza y’abadde mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, ku Lwomukaaga (nga May 17, 2025).

Kkwaaya ya Klezia ya Yezu Kabaka eya wamu ng'eyimba mu mmisa

Kkwaaya ya Klezia ya Yezu Kabaka eya wamu ng'eyimba mu mmisa

Msgr Kalumba yeyayimbye mmisa eno, ng’ali wamu ne Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paulo Ssemogerere, Ssabepiskoopi Dr Augustine Kasujja (Omubaka wa Paapa omuwummuze), Viika Genero Munsennyooli Rogers Kabuye Mukasa, Msgr John Waynand Katende, n’Abasaserdooti abalala abaasusse mu 150, nga kubo kwabaddeko n’abaasoma naye, nga Fr Dennis Kyemwa, Fr Augustine Mpagi, Fr Aloysius Muwanga, Fr Kakuba Kapia, n’abalala.

Bweyabadde ayigiriza mu mmisa, Ssabasumba Ssemogerere y’atenderezza Msgr Kalumba olw’obuweerezaabwe, bweyagambye nti bugasizza nnyo Klezia wa Katonda.

 “Msgr Kalumba aweerezza bulungi Klezia w’Omukama, ng’abugujja okwagala, amaanyi, n’obumalirivu. Yonna gy’akoledde, e Kiganda gyeyali nga omumyuka wa Bwanamukulu, mu Seminario enkulu omuli ey’e Katigondo, ey’e Alokulum, n’eye Ggaba, nemubigo gyeyali nga

Msgr Kalumba ow'okusatu okuva ku kkono, ng'ali ne ba Ssaabasumba, n'abamu ku Basaseredooti beyasoma nabo b

Msgr Kalumba ow'okusatu okuva ku kkono, ng'ali ne ba Ssaabasumba, n'abamu ku Basaseredooti beyasoma nabo b

Bwanamukulu omuli eky’e Lubaga, eky’e Wakiso, n’ekya Yezu Kabaka waali kati, abantu ba Katonda abadde abaweereza n’essanyu lingi, era n’okwagala. Atandise era n’amaliriza pulojekiti nnyingi, omuli ne Klezia eno amatiribona, eya Yezu Kabaka.

Ate era atuweerezza bulungi nga Viika Genero. Abadde muwanika mulungi ow’eby’obugagga bwa Klezia. Agunjudde Abasaserdooti bangi era n’ababeerera eky’okulabirako,” Ssemogerere bweyategeezezza.

Ssabakristu w’ekigo kya Yezu Kabaka, Rogers Ssemakula naye Msgr Kalumba y’amwogeddeko birungi byereere.

“Emyaka gyonna 17 Msgr Kalumba gy’akoledde mukigo kino, atubeeredde akabonero akalabika ak’okukkiriza, n’ekisa. Omulimo gwe bulijjo abadde agukola n’obuwombeefu, era n’obugumiikiriza.

Abasaseredooti nga bayambako Msgr Kalumba (wakati), okusalaasala omucomo gw'embuzi

Abasaseredooti nga bayambako Msgr Kalumba (wakati), okusalaasala omucomo gw'embuzi

Ebigambo bye bituzzizzaamu amaanyi, emikono gye jitubundugguddeko emikisa, essaaalaze zitutikkudde emigugu egy’omwoyo n’egy’omubiri. Omukululo gw’obuweerezaabwe gweyolekera bulugi mubulamu bw’abantu abangi bw’akutteko.

Eby’amaanyi by’akoze biwa obukakafu nti omuntu bw’asalawo okuweereza abantu mumazima n’obwesigwa, asobola okukyusa ensi,” Ssemakula bweyategeezezza.

Omukulu John Bosco Kibirige, omu kubaayogedde kulwa famire, y’ategeezezza nti Msgr Kalumba aliko emikisa gya Katonda, kuba bweyamala okufuna Obusaserdooti mu 1975, famire y’afuna Abasaserdooti abalala, okuli ne mutoowe Fr James Ssebayigga, n’e Bannaddiini bangi.

Msgr Kalumba yeebazizza  bazadde be, ab’oluganda lwe, ab’emikwano, Abakristu n’abantu bonna ab’omwoyo omulungi olw’okumwagla, okumusabira, n’okumuwanirira mubuweereza bwe. Y’ategezezza nti ye yava mu maka mayabayaba muby’ensimbi, n’atendereza Katonda eyamusobozesa okufuuka kyali, n’okubeera awo waali.

Aba Pastral Council eya Klezia ya Yezu Kabaka nga bakwasa Msgr Kalumba ekirabo

Aba Pastral Council eya Klezia ya Yezu Kabaka nga bakwasa Msgr Kalumba ekirabo

Yagambye nti n’ebyo byebamutendereza nti akoze ye tabiraba, kubanga ssente z’abadde akozesa Abakristu beebabadde bazimuwa. Yeebazizza Abepisikoopi okuli omugenzi Ssabasumba Dr Joseph Kiwanuka, omugenzi Emmanuel Kalidinaali Nsubuga, Kalidinaali Emmanuel Wamala, omugenzi Ssabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga ne Ssabasumba Paulo Ssemogerere aliko kati, olw’okumulabirira, n’okumulungamya.

Omukolo gwetabiddwako abantu bangi, okwabadde Ssabakristu w’essaza ekulu erya Kampala, Emily Kitto Mwaka, n’Abaserikale ba Paapa nga Dr Saturninus Kasozi Mulindwa, ne Anthony Mateega Nakirya.

Abakristu nga batwalayo ebirabo mu mmisa

Abakristu nga batwalayo ebirabo mu mmisa

Omukulu w’ekika ky’Engeye, Omutaka Sheba Kakande Kasujja VIII, naye omukolo guno y’agwetabyeko.

Oluvannyuma lwa mmisa, Msgr Kalumba y’agabudde abagenyi be ekijjulo kyeyategekedde mu ssomero lya Kampala Parents School.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});