Ekitongole ky’amasannyalaze kigumizza ebitundu gye gavaako
May 20, 2025
EKITONGOLE ky’amasannyalaze ekya UEDCL kitegeezezza ng’amasannyalaze bwe gagenda okuvaavaako omwezi gwonna ogwa May olw’omulimu gwe baliko ogw’okuddaabiriza emiti n’ebyuma ebibadde bikaddiye.

NewVision Reporter
@NewVision
EKITONGOLE ky’amasannyalaze ekya UEDCL kitegeezezza ng’amasannyalaze bwe gagenda okuvaavaako omwezi gwonna ogwa May olw’omulimu gwe baliko ogw’okuddaabiriza emiti n’ebyuma ebibadde bikaddiye.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa aba UEDCL baalaze nti okuvaako kw’amasanyalaze kwatandika May 2 nga kwakugenda mu maaso okutuusa nga May 30 bwe basuubira
okuba nga bamalirizza okuddaabiriza.
Kino we kijjidde ng’abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bakaaba olwamasannyalaze agasusse okuvaako ekiviiriddeko ne bizinensi nnyingi okwesiba.
Disitulikiti ezisinga okukosebwa kuliko; Greater Kampala mu bitundu by’e Nansana, Bweyogerere, Nsangi, Kyengera, Mutundwe, Luzira, Namugongo ne Kittante. Wakiso, Masindi, Mbarara, Jinja, Kasese, Lira, Kitgum, Tororo, Mpigi, Hoima n’awalala.
Ebyalo 9 mu disitulikiti y’e Mityana mu ggombolola y’e Butayunja bigenda kuweza emyezi ebiri nga tebirina masannyalaze oluvannyuma lw’okufuna ababbi abaasalayo waya ezaali ku miti ne bazitwala.
Ebyalo ebitalina masannyalaze kuliko; Nawanjiri, Bekiina, Ngandwe, Butayunja, Kitongo, Nsabwa, Kkande, Kiggwa ne Bulesa. Gye buvuddeko omwogezi w’ekitongole kya UEDCL, Jonan Kiiza yali asuubizza ng’ekizibu ky’amasannyalaze g’e Kitongo bwe kigenda okukolebwako mu bwangu, kyokka tewali kyali kikoleddwa okusinziira ku ssentebe w'omuluka ogwo, George William Kyaterekera. Minisita w'ebyamasannyalaze
Ruth Nankabirwa bwe yabadde e Luweero ku mukolo gw’abakulembeze ba NRM mu Buganda, yeetondedde Abalyannaka olw’amasannyalaze agavaavaako n'agamba nti kivudde ku ku mbeera eriwo ey'okugaddaabiriza okusobola okubaweereza obulungi.
Yagambye nti okuva UEDCL lwe yeddiza emirimu egyali egya UMEME, yatandikidde ku kya kusimba bikondo bipya, okusimba tulansifooma empya ne waya ezibadde mu mbeera embi.
Yasuubizza nti okuddaabiriza kuno bwe kunaggwa, amasannyalaze tegajja kuddamu kuvaako nga bwe kiri mu kiseera kino. Mu kukola, kiba kibeetaagisa okuggyako amasannyalaze nga bwe kinaaba kiwedde abantu bajja kuba bagoota ku bbeeyi eya wansi. Nankabirwa yasabye abantu okukolagana ne Gavumenti mu
kulwanyisa abantu ababba waya za masanyalaze kuba kibazizza nnyo emabega
No Comment