KageziCBp. Banja atuuzizza omusumba w’e NabweruAbakyala
May 20, 2025
KIRAGGAOMULABIRIZI w’e Namirembe, Bp. Moses Banja ajjukizza Ban-nayuganda obukulu bw’okuwa abakulem-beze baabwe ku mitendera egy’enjawulo ekitiibwa n’abakuutira obutabayisaamu maaso kuba babeera balonde ba Katonda.

NewVision Reporter
@NewVision
KIRAGGAOMULABIRIZI w’e Namirembe, Bp. Moses Banja ajjukizza Ban-nayuganda obukulu bw’okuwa abakulem-beze baabwe ku mitendera egy’enjawulo ekitiibwa n’abakuutira obutabayisaamu maaso kuba babeera balonde ba Katonda.
Bino Bp. Banja yabyo-geredde ku Kkanisa ya St. Luke Nabweru mu kutongoza obusumba n’okutuuza omusumba w’Ekkanisa eno, Rev. Semei Ssekiziyivu.
Yagambye nti Abakrista-ayo bateekeddwa oku-waayo akadde ne basabira abakulembeze kubanga bayita mu kusoomoo-zebwa okw’engeri ez’enjawulo.Rev. Ssekiziyivu yakubye ebirayiro by’okuweereza mu kifo kino awatali kweganya n’asiima Abakristaayo b’e Nabweru olw’okubeera obumu n’okumwaniriza mu kitiibwa n’okutambuza emirimu gya Katonda.Obusumba bw’e Nabweru bwatongozed-dwa nga bukutulwa ku bw’e Nansana.Rev. Sekiziyivu yee-bazizza omubuulizi w’Ekkanisa y’e Nabweru, Ssaalongo Simon Peter Kintu olw’okuwoma omutwe mu mukolo guno ng’akunga
Abakristaayo okutambuuza emir-imu gy’Ekkanisa omuli okuzimba ennyumba y’omusumba ne pulojekiti ez’enjawulo.Yeeyamye okukola ekisoboka okukulem-bera ekisibo kya Kristo ng’atuukiriza byonna ebiri mu buweereza bwe.
Yajjukizza abatannaba-tiza baana n’abaagala okugattibwa mu bufumbo obutukuvu okwettanira Essakalamentu zino kuba oluvannyuma lw’okubatongoza nga obusumba, kisemberezza Abakristaayo obuweereza obw’enjawulo.Omukolo gwetabid-dwaako bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo, bannaby-abufuzi mu Nansana n’abaweereza b’e Mmen-go.
No Comment