Baazizza amaka g’akulira okunoonyereza ku Palamentic
May 21, 2025
AMAGYE gazzizzaayo akulira okunoonyereza ku misango ku Palamenti, Charles Twine mu maka ge agasangibwa ku kyalo Bukemba – Gayaza ne bagaaza.

NewVision Reporter
@NewVision
AMAGYE gazzizzaayo akulira okunoonyereza ku misango ku Palamenti, Charles Twine mu maka ge agasangibwa ku kyalo Bukemba – Gayaza ne bagaaza.
Okumutwala mu maka ge, abajaasi baasoose kumutwala ku poliisi y’e Nateete gye baakwataganidde n’abaserikale okuva ku poliisi e Kibuli olwo oluvannyuma ne bagenda mu maka ge nga bamutadde ku mpingu.
Ensonda mu ffamire ya Twine zaategeezezza nti baayazizza amaka gonna naye tebalina kye baggyeeyo era bwe zaabadde zikunukkiriza okuwera essaawa 12:00 ez’akawungeezi, baamututte ku poliisi y’e Kira (Namugongo) gye baamusibidde.
Twine yakwatibwa ku Lwakusatu lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’okuyitibwa ku kitebe kya poliisi e Naggulu nga bamutegeezezza nti mukama we, omuduumizi wa poliisi, Abbas Byakagaba yaliko bye yali ayagala okwogeramu naye.
Ono ye yali omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, kyokka oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okukyusa eyali akulira ekitongole kino, Grace Akullo n’amusikiza Maj. Tom Magambo, Twine yakyusibwa n’atwalibwa ku Palamenti.
Omwogezi wa poliisi, Kituma Rusoke bwe yatuukiriddwa yagambye nti baabadde bagenda kufulumya ekiwandiiko ekitongole ku by’okukwata Twine wamu n’okwaza amaka ge kyokka eggulo we twagendedde mu kyapa nga tekinnafuluma.
No Comment