Genderera olulyo lw’olunda okufuna ky’oyagala mu nkoko

May 21, 2025

OLULYO kimu ku by’olina okussaako essira ng’ogenda ku kkampuni gy’ogenda okugulako enkoko z’ogenda okulunda osobole okufuna ky’oluubirira mu nkoko z’olunda.

NewVision Reporter
@NewVision

OLULYO kimu ku by’olina okussaako essira ng’ogenda ku kkampuni gy’ogenda okugulako enkoko z’ogenda okulunda osobole okufuna ky’oluubirira mu nkoko z’olunda. Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka annyonnyola nti, omuntu yenna ayingira obulunzi bw’enkoko olina okumanya ky’oyagala mu nkoko ezo.
Enkoko teziriimu ssente era bw’obeera ozirunda kufuna ssente ogenda kulemwa kuba enkoko zikuwa nnyama oba magi nga bino by’otunda okufuna ssente. Noolwekyo ng’olonda olulyo kakasa nti, agenda mu z’ennyama, olulyo olwo lukuwa ennyana okusinziira ku katale k’otundamu, ate ow’amagi, londa olulyo olukuwa amagi amangi ate nga malungi.
Okusoomoozebwa okuli mu balunzi ba Uganda, tebaawula linnya lya lulyo lwa nkoko
n’erya kkampuni ezitunda. Okugeza Agrarian Systems Ltd enkoko gy’etunda eyitibwa Novogen nga bwekiri ku kkampuni endala zonna ezitunda enkoko.
Tolunda kkampuni wabula olulyo olutuufu kuba togenda kusinziira ku kkampuni wabula olulyo we waguze. Ebimu ku bisinziirwako kulonda olulyo bwe budde bw’etwala okutuuka w’otandikira okugifuniramu.
Okugeza mu nkoko z’ennyama waliwo olulyo ng’okutuuka ku buzito obugenda ku katale kigitwalira emyezi 2-3, kyokka nga waliwo ezitwala omwezi gumu ku gumu kitundu ng’otunda. Kino kitegeeza nti, waliwo ezikula akasoobo n’ezanguwa nga tekivudde ku mmere wadde ekifo w’olundira. Noolwekyo agenda okulunda, kikulu okumanya ebbanga olulyo lw’olunda lye lutwala okutuuka ku katale, kuba gy’okoma okulwa obeera okendeeza magoba ge wandifunye. Jjukira nti, by’okola bibeera bye bimu mu bbanga ly’omala ng’otunda enkoko. Waliwo enkoko etandikirawo okukula ate endala ng’ekula luvannyuma lw’akaseera ng’emyezi ebiri n’okudda waggulu..

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});