Gavumenti etongozza enkola ya Uganda Climate smart agriculture Transformation project
May 22, 2025
GAVUMENTI ng'eri wamu ne minisitule y'ebyobulimi n'obulunzi etongozza enkola amanyiddwa nga Uganda Climate smart agriculture Transformation project.

NewVision Reporter
@NewVision
GAVUMENTI ng'eri wamu ne minisitule y'ebyobulimi n'obulunzi etongozza enkola amanyiddwa nga Uganda Climate smart agriculture Transformation project.
Enkola eno egenda kubeera mu district 76 eza Uganda ezisinga okutawanyizibwa ekyukakyua y'obudde omulimu Bukedde, Nakasongora, karamoja, kyenjojjo awamu ne kyegegwa n'endala.
Munkola eno abalimi baakufuna ebikozesebwa ebyongera ku mutindo gwebyebalimye n'obulinzi.
Enkola eno yakuganyulwamu n'abali mu nkambi z'ababundabunda kibasobozese okwelimira emmere gyebanalya n'okwongera kunyingiza zaabwe nga bwebalindirira gavumenti .
Abakungu okuva mu ministry y'obulimi n'obulunzi
Okusinzila ku kamisona okuva mu ministry y'ebyobulimi Steven Tinibenjuka omukulembeze w'egwanga yalagira ministry y'ebyobulimi okukola ekisoboka abantu bwebaba balima balina okukuuma obutonde bwensi ate n'okuyamba abalimi obutalima byakutunda byoka.
Bwatyo Steven akinoganyiza nti munteekateeka eno gavumenti yakusiima ebidiba oba ziyite dam ezinavaamu amazzi gafukilire ebimera by'abalimi ssaako ne bisolo
Steven anyonyodde nga munteekateeka eno Bank yensi yonna bweyabawa obukadde bwa dollar 350 nga ku zino obukadde 20 bugenda mu babundabunda .
Ayongedeko nga bwebakwatagana ne kitongole kyaNARO okulaba nga bagula ensigo ezigumila embeera y'obudde
No Comment