Kagimu bamusibye lwa bbanja lya kawumbi
May 22, 2025
EYALIIKO ambasada wa Uganda mu Switzerland ne Nigeria, Maurice Peter Kagimu Kiwanuka mutabani w’eyaliko ssaabalamuzi wa kkooti, Ben Kiwanuka asindikiddwa mu nkomyo lwa bbanja lya kawumbi. Kiddiridde okuyitibwa mu kkooti enfunda eziwera nga talabikako ku musango ogwamuwawaabirwa mulimi w’emmwaanyi, Richard Ssansa ow’oku kyalo Kisaabwa mu ggombolola y’e Butenga e Bukomansimbi.

NewVision Reporter
@NewVision

Okusinziira ku Ssansa yawola Kagimu ensimbi akawumbi kamu ze yamuwolanga mu bitundutundu okuva mu mwaka gwa 2015 kyokka n’atuuka n’alemererwa okumusasula
ekyamuwalirizza okuddukira mu kkooti e Masaka.
Kagimu yakwatiddwa okuva mu maka ge e Kampala n’aleetebwa mu kkooti eno mu maaso g’omuwandiisi wa kkooti, Roy Karunji eyamutegeezezza nga bwazze ajeemera ebiragiro
bya kkooti era n’amusindika mu kkomera yeebakeyo emyezi 6. Teyaweereddwa
mukisa kwewozaako.
Omu ku bannamateeka be, Cyrus Nsubuga yasabye Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga okutaasa Kagimu
No Comment