Namyalo ajaguzza obuwanguzi obutuukiddwaako mu kulonda kwa NRM
May 22, 2025
AKULIRA ofi isi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga, Hajjat Hadijah Namyalo ajaguzza obuwanguzi obwatuukiddwako bammemba b’ekibiina kya NRM abawagiddwaofi isi ye abaakukumbye ebifo mu kalulu k’okusunsula abakulembeze b’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA ofi isi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga, Hajjat Hadijah Namyalo ajaguzza obuwanguzi obwatuukiddwako bammemba b’ekibiina kya NRM abawagiddwa
ofi isi ye abaakukumbye ebifo mu kalulu k’okusunsula abakulembeze b’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo.
Agambye nti obuwanguzi buno ke kabonero ak’enkukunala akalaga nti Museveni agenda kuwangulira waggulu akalulu ka 2026 agende mu maaso n’okutuusa Uganda ne Afrika ku ntikko.
Bino Namyalo yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku ofiisi ye, e Kyambogo ku Lwokubiri ng’ayanjula omuwendo gw’abazzukulu ba Museveni abali wansi wa ofi isi ye abaawangudde ebifo.
Namyalo yagambye nti ofi isi ye yokka yafunye ebifo 1,348,981 ku mutendera gw’ebyalo gwokka mu kalulu k’okusunsula abakulembeze b’ekibiina ku bifo 2,160,000 ebyabadde birwanirwa okuva ku byalo 72,000 ebiri mu ggwanga.
Yagambye nti ofi isi ye egenda kufuba okulaba nga baleeta bakandideeti abawera okuvuganya ku bifo eby’amaanyi mu ttabamiruka wa NRM gye balondera abakulembeze
baabwe ku mutendera ogusembayo ogw’olukiiko olufuzi olw’ekibiina olwa [CEC].
Uganda erina emiruka 10,730, nga ku miruka gino NRM kirinamu ebifo 321,900 ebivuganyizibwako nga ku byo bammemba ba ofi isi yange [ONC] bawanguddeko ebifo
153,200, kuno nafunyeeko ba ssentebe 7,200 ekyalese ababadde bavuganya naffe nga bakakasizza amaanyi ga Namyalo.
NRM erina ebifo 65,730 ebivuganyizibwako ku magombolola ne munisipalite 2,191 kyokka ofi isi ye yawanguddeko ebifo 28,981 nga kuliko bassentebe 1,680.
Namyalo yagambye nti obuwanguzi buno obwatuukiddwako tebwabadde lwakuba na ssente nnyingi wabula akassente akatono Pulezidenti keyabawa kabatuusizza ku buwanguzi wadde basanze okusoomoozebwa n’okutiisibwatiisibwa kwa maanyi okuva mu bamu ku bakungu ba NRM. Yalaalise Bobi Wine nti akimanye nti NRM emaze okwenyweza okuviira ddala ku byalo wansi nga bakozesa enkola empya ey’abantu
10 ku buli kyalo (10-member voter protection teams) abagenda okukuuma akalulu ka Museveni mu 2026.
No Comment