Abasabye okusabira eggwanga
May 23, 2025
ABALAMAZI abagenda e Mecca omwaka guno basabiddwa okusabira ennyo eggwanga liyite bulungi mu kalulu k'omwaka ogujja.

NewVision Reporter
@NewVision
ABALAMAZI abagenda e Mecca omwaka guno basabiddwa okusabira ennyo eggwanga liyite bulungi mu kalulu k'omwaka ogujja.
Jjajja w'Obusiraamu, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge ye yasabye abalamazi abasoba mu 1,000 bwe yabadde abasiibula ku muzikiti e Wandegeya.
Nakibinge yagambye nti okusinziira ku bigendam mu maaso mu kiseera kino, buli
Munnayuganda afuna omwagaanya ogwogera ne Katonda, asabe asobole okutaasa eggwanga akazigizigi.
"Nga musitula okugenda okuwaaba ebizibu byammwe eri Allah, temwerabira
ggwanga lyammwe naddala mu kaseera ke tugendamu," Dr. Nakibinge
bwe yagambye.
Yagambye nti embeera yonna ezze ebaawo mu biseera eby’akalulu eraga nti ebintu si birungi eri Bannayugandabonna kuba eggwanga bwe litabanguka buli muntu akosebwa.
Yawadde ekyokulabirako ky'abantu abaakwatibwa mu kalulu akaggwa nti kati gigenda kuwera emyaka 5 nga bakyakuumirwa mu makomera
No Comment