‘Gavt. eyambe eddwaaliro ly’e Mulago
May 23, 2025
OMULAMUZI Irene Mulyagonja Kakooza nga ye nnamwandu omutongole ow'omugenzi John Baptist Kakooza abadde munnamateeka omugundiivu akaabizza abakungubazi amaziga ng’alombojja obulwadde obusse bba ne bubatambuza mu malwaliro ag’enjawulo mu ggwanga 5 omuli n’ekkulu ery'e Mulago gye yasanze ebyamwewuunyisizza.

NewVision Reporter
@NewVision
OMULAMUZI Irene Mulyagonja Kakooza nga ye nnamwandu omutongole ow'omugenzi John Baptist Kakooza abadde munnamateeka omugundiivu akaabizza abakungubazi amaziga ng’alombojja obulwadde obusse bba ne bubatambuza mu malwaliro ag’enjawulo mu ggwanga 5 omuli n’ekkulu ery'e Mulago gye yasanze ebyamwewuunyisizza.
Yayogedde ku Mulago ennaku n’emweyongera n’amaziga ne gamuyunguka n’abakungubazi nti gye yali asuubira eky’enjawulo okuyamba omulwadde we kyokka n’akapiira ke bamussaako kaababula.
‘Eddwaaliro ekkulu ery’eggwanga erijjuddemu abakugu era lye tuyita Specialized Hospital eriweebwa buli kimu, lyali teririna wadde ka tube (CBC) akatuyamba,” Mulyagonja bwe yagambye.
Kino yakyogedde abakungubazi bamuwagira nti ekyo kye yalabye bangi abatwalayo abalwadde kye bayitamu era mutuufu.
Yagambye nti omu ku basawo yasooka kumugamba nti bagenda kukamuteekako
ku makya n’amuddamu emisana n’olweggulo okutuusa omusawo omulala bwe yamubuulira amazima nti tebabulina. Ku ddagala, yagambye nti lingi tebalirina era omulwadde ateekeddwa kuligula wabweru wa ddwaaliro.
Bino yabyogeredde mu mmisa y’okusabira bba Kakooza eggulo mu Lutikko e Lubaga. Abakungu ab’enjawulo omwabadde omumyuka wa Ssaabalamuzi Fravian Nzeija yeetisse obubaka bwa Ssaabalamuzi, Owiny Dollo bwa bukadde 20.
Abalala abaabaddewo kuliko; Richard Buteera, abakungu ba NSSF, bakatikkiro ba Buganda abaawummula okuli Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere, JB Walusimbi, Loodi mmeeya Erias Lukwago ababaka ba Palamenti okuli; Richard Ssebamala, Medard
Sseggona, Gonzaga Ssewungu, ssentebe wa Wakiso, Matia Lwanga Bwanika, Banna DP abaakulembeddwa Gerald Siranda n’abalala.
Namwandu yamenye amalwaliro nti baatandikira mu IHK ne bavaayo nga ssente zisusse ne bagenda e Nsambya, ne baddako e Mulago n’eddwaaliro lya Dr. Mukwaya e Nsambya. Yalaze nti ensimbi zaabaggwaako n’agamba nti ye nga omulamuzi omulamba nga tayinza kutandika kusabiriza ssente, kwe kusalawo okugenda e Mulago kyokka bye yasanzeeyo nabyo nga bizibu era Gavumenti erina okukolawo eky’amangu.
Omugenzi yafudde nga May 17, 2025 nga baasoose kumusomera Mmisa mu maka ge e Nsambya ku Lwokubiri. Ku Lwokusatu, emmisa yabadde mu Lutikko e Lubaga nga yaziikiddwa eggulo (Lwakuna) e Kalungu
No Comment