Ebintu bye tulina okwegendereza awaka okwewala okukosebwa

May 24, 2025

WALIWO ebintu eby’obulabe awaka abazadde bye tubuusa amaaso naye nga bisobola okubeera eby’obulabe eri naddala abaana bwe tuba tetubyanguyidde.

NewVision Reporter
@NewVision

WALIWO ebintu eby’obulabe awaka abazadde bye tubuusa amaaso naye nga bisobola okubeera eby’obulabe eri naddala abaana bwe tuba tetubyanguyidde.

Nga June 24, 2012 abatuuze ba zzooni ya Mawanga Central e Munyonyo mu Kampala baabuutikirwa entiisa, omwana wa mutuuze munnaabwe ow’emyaka ebiri n’ekitundu bwe yayita mu ddirisa ku nnyumba ya kalina n’agwa wabweru n’akalirawo.

Ebimuli N’ebimera Ebirala Mu Luggya. Wabula Waliwo Ebitera Okubeera Eby’obutwa Ebiyinza Okukosa Abaana.

Ebimuli N’ebimera Ebirala Mu Luggya. Wabula Waliwo Ebitera Okubeera Eby’obutwa Ebiyinza Okukosa Abaana.

Yinginiya Vincent Katende owa Treasure Consults, agamba nti, alabye abaana bangi abafunye obubenje nga bambuka amadaala olw’abazadde obutateekako buuma bbali bubatangira kugwa.

Abalala amadirisa tegabeeramu buuma ate awalala mwe buli bubeera bwakolebwa bubi nga bulina amabanga manene.

Agamba nti, waliwo n’abaana abafunye obuzibu ne bafa olw’okulya ebintu by’obutwa, okulya ennyo, okukwata ku masannyalaze, okugwa mu bidiba by’awaka ate mulimu n’obubenje obujja emmotoka ne zikoona abaana awaka wennyini.

Okusinziira ku Harriet Senfuka, omukugu mu kukuza abaana agamba nti, omuzadde alina okukimanya nti, awaka waliwo ebintu bingi ebisobola okuba eby’obulabe nga soketi z’amasannyalaze, ppaasi, ebbinika, eddagala, wansi awaseerera n’omuddo ogw’obulabe.

Omuzadde asaana okulowooza ennyo ku bubenje obusobola okugwa awaka era weegendereze amazzi obutanjaala wansi n’okwewala abaana okutuuka ku bintu by’amasannyalaze.

 

Leonard Muzahura eyakuguka mu kutegeka empya agamba nti, ebimera ebimu bya bulabe nga tebyetaaga kumala gasimba waka kuba birimu obutwa.

Ebimu birabika bulungi, kyokka omuntu bw’anoga ebikoola n’abigaaya bisobola okukosa amawuggwe ne kimuviirako n’okufa.  

Kino kitegeeza nti, bw’oba tonnaba kusimba kimuli oba muddo awaka, kirungi okusooka okwebuuza ku bakugu bakuwabule.

Omuntu alina abaana abaavula olina okukimanya nti, babeera baagala nnyo okuvumbula ekipya buli kadde. Kitegeeza ebintu nga kabada, ffiriigi birina okuba nga biteekeddwa mu kifo we bitasobola kuvaayo kugwa mangu ng’omwana abadde abisindise oba ng’abisise.

Katende agamba si kirungi kuteeka bintu nga ntebe okumpi n’eddirisa omwana w’asobola okulinnyira n’ayitamu n’agwa wabweru.  Ebintu ebyangu nga baketi waliwo lwe bisobola okufuuka eby’obulabe singa mubeeramu amazzi ng’abaana basobola okubituukamu. 

Omwana bw’agwaamu n’atafuna mangu buyambi asobola okufiirwa obulamu. Kino kitegeeza nti, omuzadde olina okuba ng’oyogera n’abaana ku bintu by’obulabe babyewale ng’obalaga obuzibu obuyinza okuvaamu.

Ebintu nga ttivvi, kuuka, microwave, ppaasi, waya z’amasannyalaze birina okukuumibwa nga tebituukibwako mangu baana.

Mariah Kiwagama, omukugu mu kutegeka amayumba, agamba omuzadde alina okwekenneenya ebisenge by’abaana n’akakasa nga temuliimu bintu biyinza kuba bya bulabe.

Awaka kyandibadde kirungi okubeerawo kkamera enkessi ezikuyamba okulaba ebiri awaka ne bw’obeera toliiwo. Kiwagama agamba nti, ebintu abaana mwe baliira, engoye, ssabbuuni byonna birina kukuumibwa butiribiri.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});