Omusibe afiiridde mu kkomera n'aleeta ensasagge
May 25, 2025
Omusibe okuva mu kkomera ly’e Mutufu mu disitulikiti y’e Sironko afiiridde mu kulima bwe babadde babatutte e Bunambutye ku lubimbi.

NewVision Reporter
@NewVision
Omusibe okuva mu kkomera ly’e Mutufu mu disitulikiti y’e Sironko afiiridde mu kulima bwe babadde babatutte e Bunambutye ku lubimbi.
Omwogezi wa poliisi mu Elgon, SP Rogers Tayitika yagambye nti poliisi enoonyereza okuzuula engeri Wolimbwa Alex Magolo, 22, gye yafudde nga babatutte okulima e Kata Bunambutye.
Bano abaabadde abasibe 60, baawerekeddwaako omuserikale Edward Orionzi. Bwe baabadde balima, ku ssaawa nga 2:00 ku makya ku Lwokusatu, baalabidde awo nga Wolimbwa atondoka n’agwa eri n’atandika okubimba ejjovu.
Baamuyoddeyodde okumuddusa ku ddwaaliro e Muyembe kyokka yafiiridde mu kkubo kuba baabadde bali ku bigere.
No Comment