Engeri abali b’enguzi ‘abanene’ gye beepena okukwatibwa

May 26, 2025

Abali b’enguzi ab’amaanyi mu ggwanga bakyagenda mu maaso n’okwepena omukono omuwanvu ogw’amateeka, nga buli abalwanyisa enguzi lwe batega ekitimba, kikwasa abali b’enguzi abatono, Bannayuganda be baakazaako ‘bumukene’, olwo ebyennyanja ebinene ne biyinaayina.

NewVision Reporter
@NewVision

Abali b’enguzi ab’amaanyi mu ggwanga bakyagenda mu maaso n’okwepena omukono omuwanvu ogw’amateeka, nga buli abalwanyisa enguzi lwe batega ekitimba, kikwasa abali b’enguzi abatono, Bannayuganda be baakazaako ‘bumukene’, olwo ebyennyanja ebinene ne biyinaayina.
Embeera eno ezibuwazizza  okumalawo obulyake mu ggwanga, olw’ababbi abakulu okwepena eddobo ly’abakwasisa amateeka, ekibawa omwagaanya okusigala
nga bayiiya engeri y’okubbamu ssente buli mwaka, olw’obukodyo bwe bakozesa mu kunyaga.
Ssente ezibbibwa, ze zirina okukozesebwa okutuusa obuweereza ku bantu okugeza; okuzimba amalwaliro, enguudo, amasomero, emyala, obutale n’ebirala, nga ziba zikung’aanyiziddwa mu Bannayuganda, okuyita mu misolo.
Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya, Transparency
Internantional, Uganda ekola bubi mu kulwanyisa obuli bw’enguzi ng’ekwata ekifo kya
141 ku mawanga 180, era enguzi ekyafung’amye mu bitongole bya Gavumenti ebivunaanyizibwa okuweereza abantu.
Okusinziira ku kunoonyereza kwa ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti, Uganda buli mwaka efiirwa ssente eziri mu buwumbi 10,000 okuyita mu bulabbayi, obukenuzi, obubbi n’obulyake.

ans Mutesasira Kaganizo, ssentebe wa Uganda Liberal Teacher’s Union Members SACCO ne Hassan Esiingwa Maganda, nnannyini Hansem Technical Services Limited, baakwatibwa mu March omwaka guno.

ans Mutesasira Kaganizo, ssentebe wa Uganda Liberal Teacher’s Union Members SACCO ne Hassan Esiingwa Maganda, nnannyini Hansem Technical Services Limited, baakwatibwa mu March omwaka guno.


Wadde nga Gavumenti etaddemu amaanyi okulwanyisa  enguzi, ababbi abanene bakyali
kizibu kinene olw’amagezi ge  bakozesa nga babba ne bataleka mukululo w’osobola kubakwatira, ate nga kkooti zikolera ku bujulizi.
LWAKI ABABBI ABANENE BASIMATTUKA EDDOBO?
Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanyisa enguzi ekya, Anti-Corruption Coalition Uganda, Marlon Agaba, agamba nti ababbi abanene basensedde ebifo ebikola okusalawo mu ggwanga. Embeera eno ezibuwazza okubalwanyisa kuba be bandibadde
abasaale mu kaweefube ono, kyokka ate be beenyigira mu bulyake.
Okumanya embeera eno nzibu, Agaba agamba nti omuntu bw’avaayo okulwanyisa ababbi, abeera ng’alwanyisa Gavumenti, olw’amaanyi abali b’enguzi ge balina
mu bifo ebisalawo.
Ayongerako nti waaliwo ekyaleetebwa, nga kyagala ab’oluganda  w’omukozi wa Gavumenti omuli; abakyala n’abaana nabo balangirire ebyobugagga byabwe eri Kaliisoliiso wa Gavumenti, kyokka tekyayitamu, kuba abandikiyisizza ate bwe banyagulula ebyobugagga, babissa mu mannya g’abaana baabwe okulemesa
ababanoonyerezaako.
Olw’okuba ababbi abanene baba ne ssente nnyingi ze bafuna mu bulyake, kibanguyira okugulirira poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango n’ereka ebbali obujulizi obubaluma okukkakkana nga kkooti zibejjeerezza.
Agaba agamba nti eno y’ensonga lwaki obubbi obubadde muggwanga ne buwuniikiriza, okugeza ababba eza CHOGM, abaagula ennyonyi enfu, ababba ezaali zirina okuzimba ddaamu n’abalala, bonna mu misango gyabwe, waabulawo abanene abaafuna ebibonerezo.
Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirondoola ssente ez’ebyokulonda n’okulwanyisa enguzi, ekya Alliance for Finance  Monitoring, Henry Muguzi agamba
nti ababbi abanene, be bannabyabufuzi ab’amaanyi omuli baminisita, bassentebe ba disitulikiti, ababaka ba Palamenti, abawandiisi b’enkalakkalira mu minisitule, bakaminsona n’abalala.
Bano kizibu okubakwata n’okubasingisa ogw’obuli bw’enguzi, ate nga be babbi aba waggulu. Kino Muguzi agamba nti kiva ku kuba   lng’abakulu bano si be bakola ku mpapula z’okubba, balagira bulagizi abakozi okugeza ababala ebitab olwo omukugu ali wansi n’anoonya pulojekiti kw’abba.
Aba wansi bwe balaba omukulu atutte eddene, nabo nga beegabanya ezisigaddewo, kye kiva kiba ekyangu okukwata ‘bumukene’ buno okusinga eyabusindise, kuba bwe bussa
emikono ku mpapula z’omunyago.Muguzi agamba nti okumanya ababbi abanene
bayaaye, tebakkiriza kubateera ssente ezibbiddwa ku akawunti.
Ebisawo balina kubibatwalira  waka, oba mu bifo ebyekusifu amatumbibudde, waleme
kubaawo abalaba.

Agaba ne Betti Kamya

Agaba ne Betti Kamya


Abamu naddala ababba  ennyingi, okugeza obunyazi obwali mu Bbanka Enkulu omwaka oguwedde, baakolagana n’ababbi abalala mu mawanga g’ebweru,  gye baasindika ssente ku akawunti ez’ekifere, olwo  ababbi baayo ne baziggyayo ne balinda omubbi omunene
ali wano okuzinonayo.
Bw’owulira omukungu nti  yagenze bweru olowooza yagenze kuyiiyiza Bannayuganda,
kumbe anonye  munyago gwe!
Mu bubbi obw’ekika kino, Muguzi annyonnyola nti abanene  tosobola kubalabako singa ddiiru tegenda bulungi, era poliisi bw’enoonyereza, ekwata abali wansi olwo mukama
waabwe n’alya butaala nga bw’avumirira n’obuli bw’enguzi ku ttivvi!
Ye omulamuzi eyawummula era eyakulirako kkooti ewozesa emisango gy’obulyake, John Bosco Katutsi yagambye nti ekiyigula abanene okubba nga  tebakwatibwako, kwe kuba nga waggulu waabwe waliy ababawambaatira.
Mu bbanga lye yamala ng’akulira kkooti eno, agamba nti yalaba nga
waliwo abali b’enguzi abavunaanibwa n’amaanyi gonnkyokka ate abalala nga babaweeweeta, kyokka nga bali ku misango gye gimu. Ekirala abali b’enguzi
ab’amaanyi boogera ennimi nnyingi, omuli n’olwa ssente, olubayamba  okuvvuunuka emisango eminene.
KALIISOLIISO KY’AGAMBA
Kaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya yagambye nti ababbi abanene bazannya bulungi emizannyo gyabwe ne bataleka bujulizi, ekizibuwaliza ofiisi ye okubavunaana
n’okubasesemya ssente ze babbye olw’obutaba na bujulizi.
Enkola ey’okwekenneenya enneeyisa y’abakungu bano, (Life Style Audit) Kamya agamba nti ye yokka esobola okuyamba okubakwata kyokka ng’abantu ba bulijjo beetaaga okuba wakati mu kuloopa abakungu bano kuba ebintu eby’ebbeeyi ebitagya
mu misaala gyabwe babikolera mu bantu era baba bamanyi nnannyinibyo
omutuufu.
Kamya ayongerako nti okuva bwe baatandika okukunga abantu
okwenyigira mu kulondoola enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti,
waliwo ebintu bye basuuzizza  ababbi ng’abamu babiwaayo mu ddembe, nga tebaagala kuswazibwa, oluvannyuma lw’okubulwa obujulizi obukakasa nti
baabikola mu ssente zaabwe.
Okusinziira ku lipooti ya Kaliisoliiso ey’omwaka 2022-23, ssente
14,893,969,526/- (obuwumbi 14)  ze zaanunulwa  okuva ku
bali b’enguzi nga ku zino, 6,193,969,516/- zaasasulwa mu mpeke, ate
8,700,000,000/- mu bintu ebikalu abakenuzi bye baagula mu ssente z’omuwi w’omusolo.
Mu mwaka gw’ebyensimbi  oguwedde 2023-24, ofiisi ya Kaliisoliiso yanunula obuwumbi 5 mu mpeke,  n’ebyobugagga ebiweza obuwumbi  8, abakenuzi bye baali
baagula mu ssente enzibe.
Ekimu ku bireese obuwanguzi  buno, Kamya agamba nti be bantu ba bulijjo okufuuka
bakaliisoliiso abasookerwako, abababagulizaako naddala  ku byobugagga by’abakozi ba
Gavumenti bye balina, nga  tebikwatagana na misaala gyabwe.
Kamya ayongerako nti okulondoola enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti eyambye nnyo, kuba wadde tewaba bujulizi bulaga nti omukungu yatadde omukono ku mpapula n’abba ssente, bwe bamusanga azimba ekizimbe eky’amaanyi ne bamubuuza gye yaggye ssente
nga tasobola kunnyonnyolayo, kibanguyira okumunyweza, era  bangi bafundikidde ebyobugagga bino babisesemye.
KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA?
Agaba agamba nti Gavumenti erina okusitukiramu yeetundulemu abantu abatambulirwako enguzi awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Amawanga agalwanyisizza enguzi okugeza Botswana, Rwanda, Mauritius n’awalala, eby’okuzibira abanene  mu Gavumenti baabivaako ne  basiba buli mubbi, kwe kufuna ku
kalembereza nga Uganda ky’erina okukola.
Abalonzi nabo yagambye nti bateekwa okulaga amaanyi gaabwe nga bayita mu kalulu, baleme kulonda abo abasongeddwaamu  ennwe mu mivuyo gy’okubba ssente zaabwe. Buli lwe balonda abantu ab’ekika kino, kibongera amaanyi okubba.
Ye Muguzi agamba nti ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti erina okuweebwa amaanyi erondoole enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti (Lifestyle Audit), nga lino ly’ekkubo lyokka ery’okukwatamu ababbi abanene,  kuba bw’obateegera mu ofiisi, tosobola kubafuna.
Engaba y’emirimu gya Gavumenti n’ebifo ebyobufuzi nayo etunulwemu,  biweebwenga abantu ab’ensa, abatajja kwegaggawaza. Gavumenti erina okussa ssente  eziwera mu kusomesa abantu ku bulabe bw’enguzi, ekiseera kituuke ng’enguzi abantu ba bulijjo
ebawunyira ziizi, bo basobola  bulungi okwesamba ababbi abo  n’okubakolokota bazzeeyo ebibbe.
Ekiseera kirina okutuuka ng’omubbi  bw’ajja ku mukolo abantu bamumma akatebe w’atuula, nga bwe kiri mu mawanga g’abazungu.
Poliisi n’ebitongole ebirwanyisa enguzi, Gavumenti erina okubiwa  ssente ezimala okusobola okugula tekinologiya ow’omulembe n’okukozesa abakugu obusingayo,
kuba ababbi buli olukya bayiiya  tekinologiya w’okubba. 

ENGERI ABABBI ABANENE GYE BATIISATIISA ABA BALONKOMA 

Ebitongole bya Gavumenti  ebirwanyisa enguzi, byesigama nnyo ku bafuuyi ba ffirimbi, abalonkoma obubbi bwa ssente z’omuwi w’omusolo, obugenda maaso mu  bitongole eby’enjawulo.
l Abantu bano bakuumibwa etteeka erya Whistleblowers Protection
Act 2010, era bayambyeko okulonkoma obulyake mu bitongole  nga NSSF, UNBS (ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu), minisitule ya ssaayansi ne tekinologiya ku ssente ezaali ez’okukola eddagala erigema Covid 19 n’ebitongole ebirala.
l Wabula okusinziira ku Kaliisoliiso wa gavumenti, Beti Kamya, abafuuyi ba firimbi olumu batya okwogera, kuba ababbi abanene mu bitongole byabwe babassaako akazito
ak’amaanyi nga babategedde nti be baatambuza olugambo.
l Obumu ku bukodyo bwe bakozesa, Kamya agamba nti kwe kujingirira ebisangosango ku muntu gwe bateebereza okubalonkoma, ne bamubuzaako obwekyusizo,
ne babawummuza ku mirimu, n’ekigendererwa eky’okukanga abalala baleme kubaloopa, oba okubawaako obujulizi ng’emisango gituuse mu kkooti.
l Embeera eno Kamya agamba nti evuddeko abakozi mu bitongole okutya okufiirwa emirimu n’okutulugunyizibwa, ne basirikira obubbi obuba bugenda mu maaso.
l Wabula yabakubirizza obutatya beeyongere okuloopa abanene bano, kuba bafiirwa nnyo nga tebabaloopye, okusinga nga babaloopye.
Yawadde ekyokulabirako, nti bwe bakanyuga ekitimba, kikwata bano aba wansi abaasirika ne bagaana okwogera ng’omunene abalagira  okumubbira ssente era ne kibaviirako okubonaabona ng’omunene alya butaala.
l Mu ngeri yeemu, yabagumizza nti ofiisi ye esobolera ddala okubataasa  singa baba  batulugunyizibwa olw’okuloopa abanene, era  asobola okubataasa ku mbeera eno, n’abasaba baleme kutya kuloopa

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});