Oluguudo lw'e Ganda olulimu ebinnya ebyesima lukaabya ab'e Nansana
May 26, 2025
EMBEERA y’oluguudo lwa Western Ring Road oluva ku Jenina okudda e Gganda mu zzooni ya Nansana West 2A mu munisipaali y’e Nansana eyongedde okweraliikiriza abatuuze n’abagoba b’ebidduka olw’ebinnya ebyongedde okwesima ekivuddeko obubenje n’okukalubya ebyentambula.

NewVision Reporter
@NewVision
EMBEERA y’oluguudo lwa Western Ring Road oluva ku Jenina okudda e Gganda mu zzooni ya Nansana West 2A mu munisipaali y’e Nansana eyongedde okweraliikiriza abatuuze n’abagoba b’ebidduka olw’ebinnya ebyongedde okwesima ekivuddeko obubenje n’okukalubya ebyentambula.
Abatuuze bagamba nti baludde nga beekubira enduulu mu bakulembeze ku munisipaali okulaba ng’oluguudo lukolebwa naye tebafi iriddwaako. Baagambye nti kumpi buli lunaku wabaawo akabenje akagwa ku luguudo luno olw’abagoba b’ebidduka okutomeragana nga basala ebinnya.
Abatuuze bagamba nti oluguudo lufunda ate nga lwa nkizo wabula olw’embeera embi gye lulimu, kati abasinga basaliikiriza ne bayita e Nakkuule okwewala ebidduka byabwe okwonooneka. Ssentebe w’akatale ka Bump Market
Vendors, Alex Ssegawa yagambye nti oluguudo lumaze emyaka 4 nga teruyitikamu, bafubye okwekubira enduulu eri be kikwatako kyokka tebafuna kuddibwamu kulambulukufu.
“Emmere gye tuleeta mu katale kano tugitikkulira ku Jenina olwo ne tufuna emmotoka entono egituusa mu katale, era akasente ke twandifunyeeko ate kaggweera mu kutambuza mmere,” Ssegawa bwe yannyonnyodde.
Yagasseeko nti enkuba bw’etonnya ate gujabagira olw’ebitaba nga buli kidduka lwe kiyitamu kisammuliza abali ebbali w’ekkubo.
Bagamba nti ekisinga okubaluma kwe kuba nti enguudo zaafuuka nga nnyanga za walumbe, kyokka abasolooza omusolo okuva e Nansana basiiba beetawula ku bizimbe nga babiggala olw’obutagisasula. Kkansala w’ekitundu, Rogers Galiwango yagambye, munisipaali y’e Nansana y’eruvunaanyizibwako wabula babatuukiridde enfunda eziwera naye tewali kikolebwa.
Mmeeya wa Munisipaali y’e Nansana, Reginah Bakitte bwe yatuukiriddwa yagumizza abatuuze nti ensonga y’oluguudo luno ekolwako kuba baataddemu okusaba kwa ‘Emergency Fund’ okulaba nga lukolebwako mu bwangu.
Mmeeya Bakitte yagasseeko nti oluguudo luno lwateekebwa mu pulojekiti ya Greater Kampala kyokka nga tebasobola kubasengula mu kaseera katono kwe kusalawo okuteekayo okusaba mu
No Comment