Mubeere bumu nga mubuulira enjiri - Museveni

May 26, 2025

PULEZIDENTI Museveni asabye bannaddiini okubeera obumu nga babuulira enjiri batwale eggwanga mu maaso.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni asabye bannaddiini okubeera obumu nga babuulira enjiri batwale eggwanga mu maaso.

Yasinzidde ku kisaawe e Kololo ku Lwomukaaga mu kuggalawo olukung’aana lwa ‘Light Up Uganda For Jesus’ olwategekeddwa muwala we, Omusumba Patience Rwabwogo Museveni ow’ekkanisa ya Covenant Of Nations e Ggaba. 

Abatudde okuva ku (kkono); Odrek Rwabwogo, Patience Rwabwogo, Pulezidenti Museveni, mukyala we Janet n’omulabirizi Dr Osborn Ladonna. Abayimiridde be bamu ku bannaddiini abeetabye ku mukolo ogwo.

Abatudde okuva ku (kkono); Odrek Rwabwogo, Patience Rwabwogo, Pulezidenti Museveni, mukyala we Janet n’omulabirizi Dr Osborn Ladonna. Abayimiridde be bamu ku bannaddiini abeetabye ku mukolo ogwo.

Omulamwa gw’olukung’aana gwabadde nti; ‘Okusomoka ekkanisa okukulemberamu eggwanga lyonna’ nga gwaggyiddwa mu kitabo kya Yoswa 3:11:17.

Pulezedenti yategeezezza nti Gavumenti ya NRM we yajjira mu buyinza, ekkanisa zinnansangwa zaali zaagala awere ez’Abalokole nga bagamba nti babuzaabuza abantu nga bakola ebyamagero ebitaliiyo wabula n’atakikola kuba ne Yesu baamugamba agobe abaali bakola ebyamagero ebitaaliiyo n’abagamba babaleke kasita baba nga si balabe baabwe.

Yasiimye bazadde b’Omulabirizi Osborn Ladonna eyabadde omugenyi omukulu mu lukung’aana luno be yagambye nti balina ettoffaali ddene lye baateeka ku Uganda mu by'omwoyo.

Yasiimye muwala we, Patience Rwabwogo nti mu ffamire yaabwe tebabangako na musumba n’asaba Katonda amwongere amaanyi atuuke ku ddaala ly’omulabirizi.

Oluvannyuma Pulezidenti ne mukyala we, Janet Museveni baatadde omukono ku kiwandiiko nga beeyama okulwanyisa ebikolwa ebikyamu mu ggwanga.

Janet Museveni yasiimye bannaddiini n’abasaba okusabira eggwanga nga lyetegekera okulonda.

Ye Omulabirizi Osborn Ladonna yagambye nti bwe yali mu Uganda ne bazadde be tewaaliwo nguudo nnungi ebyokulya byali bitono naye olw’ekisa kya Katonda, Uganda kati yeeyagaza. Yasabye abantu okwewala eddiini enkadde ezaasala emisango.

Olukung’aana lwetabiddwaako ebikonge mu Gavumenti ya wakati, Mmengo ne bannaddiini okwabadde omusumba Robert Kayanja, Joshua Lwere, Omutume Dr. Joseph Sserwadda, David Kiganda, Dr. Moses Odongo, Polof. Simeon Kayiwa, Michael Kimuli, ssentebe w'akakiiko akaategese, Omulabirizi Nathan Ayimbisibwe owa South Ankole, Rt. Rev. Michael Lubowa, Omusumba Wilson Bugembe, omutume Dr. John Bunjo.

Abalala kuliko Minisita David Bahati, omulangira David Wassajja eyakiikiridde Buganda, Patience Rwabwogo yagambye nti olukung’aana luno lubadde lwa kwezza buggya, okwegatta na kusonyiwagana n’okusabira eggwanga okukyusa obukulembeze mu mirembe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});