Mmotoka y'abagambibwa okuba ababbi b'ente etomedde loole abagibaddemu ne badduka
May 27, 2025
MMOTOKA ebadde etambuzibwamu ente enzibe ekoonaganye ne loole y'omusenyu ababbi ne bavaamu ne badduka.

NewVision Reporter
@NewVision
MMOTOKA ebadde etambuzibwamu ente enzibe ekoonaganye ne loole y'omusenyu ababbi ne bavaamu ne badduka.
Akabenje kano kagudde mu mugga mayanja e Kawanda ku luguudo lw’e Bombo mmotoka ekika kya Regious nnamba UAQ 876S eyabadde epakiddwamu ente 4 bw’ekoonaganye ne’y’omusenyu.
Ezimu Ku Nte ezaasangiddwa mu kiyumba
Poliisi y’e Kawempe yagenze okutuuka yasanzeewo mmotoka n’ente nga bbo ababbi baamazeemu dda omusubi.
Muhammod Kibe yagambye nti mmotoka eyabadde etambuliramu abagambibwa okuba ababbi yabadde ku misinde bwe baatuuse mu mugga gwa mayanja e Kawanda omugoba waayo ne yekanga looe eyabadde etisse omusenyu nga nayo edda Kampala n’agikoona emabega ng'abaagibaddemu abataategeerekese muwendo baavuddemu ne badduka.
No Comment