Asikaali agambibwa okwekobaana n'abaamenye amaduuka g'abasuubuzi ne babba ssente yeegaanyi okuba mu ddiiru eyo

May 27, 2025

ASIKAALI eyakwatiddwa ku by’okumenya amaduuka g’abasuubuzi ku kizimbe kya Capital Centre mu Kampala abulidde abaserikale engeri olukwe gye lwategekeddwa.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

ASIKAALI eyakwatiddwa ku by’okumenya amaduuka g’abasuubuzi ku kizimbe kya Capital Centre mu Kampala abulidde abaserikale engeri olukwe gye lwategekeddwa.

Owen Ahumuza ye yakwatiddwa abaserikale ku poliisi ya CPS okuyambako mu kunoonyereza ku by’okubba ssente mu sseefu z’abasuubuzi oluvannyuma lw’okumenya amaduuka gaabwe  n’ayatula nga bwe waliwo abamuyingizza olukwe luno era ne babaako bye bamugamba okukola.

Ahumuza bwe yabadde afaanana.

Ahumuza bwe yabadde afaanana.

Ahumuza eyakwatiddwa ne banne abalala bana okuli  Jackilne Adong, Eric Muhangu ne Cate  Buhule yabuulidde abaserikale nti waliwo omuntu eyamutuukirira gw’amanyiiko erya Ssebuguzi n’abaako ebintu by’amusaba okuyingiza ekizimbe abeeko w’abiteeka naye kye yakola.

Ono ku Lwokubiri  yatutte abaserikale ku kizimbe ekipya ekyakazimbibwa mu paaka empya ekiri okumpi ne poliisi y’okumwala n’abaako ebyuma ebyabadde mu kadeeya bye yasitudde n’abitwala mu kizimbe nga yayayise mu kizimbe kya Pentagon nabitwala nabiteka ku ggeeti eyingira ekya Capital Centre  oluvannyuma n’agenda ku bibye.

Ahumuza kamera z’oku kizimbe kyamukutte akatambi ng’aliko ebyuma bye yabadde asitulidde mu kadeeya mu kiro ekyakesezza ku Mmande.

Wano abaserikale nga bamukunya mu kibuga wakati.

Wano abaserikale nga bamukunya mu kibuga wakati.

Yabulidde abaserikale nti ye olwayingizza ebyuma teyategedde kyazzeeko wabula yagenze okuwulira nga waliwo amaduuka agamenyeddwa ne babbamu ssente.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Ahumuza bagenda kwongera okumukunya okusobola okwogera banne ababadde mu lukwe n’engeri gye baalumuyingizzaamu.

Yagambye nti abanoonyereza ku musango guno waliwo obujulizi bwe baafunye nga abaakwatiddwa buli omu yabuuziddwa ku byabaddewo wamu n’okukola sitaatimenti era nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kamera ez’enjawulo ezeetoolodde ebizimbe.

Abasuubuzi ababbiddwa oluvannyuma kuliko Flavia Nambasa , Hassan Kayongo n’eya Ali Kivumbi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});