Poliisi egenda kuggya mmotoka z'obugombe ku batasaanidde kubeera nazo
May 27, 2025
EKITONGOLE kya poliisi kitegeezezza nga bwe kitandise enteekateeka z’okwekenneenya bantu ki ddala abasaanidde okubeera n’emmotoka z’obugombe “Lead cars” nga kino kigendereddw okuggya emmotoka za poliisi ezisinga ku bantu naddala abayitirizza okwegulumiza ku nguudo.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
EKITONGOLE kya poliisi kitegeezezza nga bwe kitandise enteekateeka z’okwekenneenya bantu ki ddala abasaanidde okubeera n’emmotoka z’obugombe “Lead cars” nga kino kigendereddw okuggya emmotoka za poliisi ezisinga ku bantu naddala abayitirizza okwegulumiza ku nguudo.
Ssentebe Wa Pac Muwanga Kivumbi Nga Akubiriza Akakiiko
Bino bitegeezeddwa amyuka omuddumuzi wa poliisi, James Ochaya bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo okwanukula ku mivuyo egyalabikira mu alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’eby’ensimbi 2023/24
Ono okutuuka ku kino kidiridde omubaka omukyala ow’e Tororo Sarah Opendi okwemulugunya ku zi poliisi ezisinga okuba nga tezirina mmotoka ziddukanya mirimu kyokka waliwo abantu abatasaanidde abalina emmotoka zaabwe n’agamba kuno kuba kudiibuda nsimbi ya muwi wa musolo.
Ono essira asinze kuliteeka kubakulira ebitongole bya gavumenti nabo abaagala okubeera n'obugombe olwo ne beeyisa nga abakungu abasingayo.
Akakiiko Ka Pac Nga Katudde N'ekitongole Kya Poliisi
Ochaya agambye nti batandise enteekateeka okulaba nga abantu abasinga baggyibwako emmotoka zino nga olwo anabeera ayagadde ajja kuba yeegulira eyiye bw’aba awuulira nti yeetaaga obukuumi.
Era ababaka ku kakiiko kano beemulugunyizza ku buwumbi 29 poliisi bwe yakozesa okugula ennyonyi etuulamu abantu 12 bokka wabula nga tesobola kugwa ku kisaawe kutali kkoolansi.
Ssentebe w’akakiiko kano, Muwanga Kivumvu agambye nti bayise Isaac Kyaligonza eyali emabega w’okujigula abitebye kubanga eno eringa etalina mugaso nga yaakatambula kkilo mmita 116 okuva mu 2019 lwe yagulwa.
Omubaka wa Mityana North Kibedi Nsegumire agambye aba poliisi bakaaba obutaba na mayumba, mmotoka, pikki, kyokka ensimbi baziteeka mu bintu ebitaza na magoba yade okubayamba.
No Comment