Nalukoola ataddeyo alaalise okujulira ng'awakanya ensala y'omulamuzi eyalagidde akalulu k'e Kawempe North kaddibwemu
May 27, 2025
MUNNAMATEEKA Elias Luyimbaazi Nalukoola ataddeyo empapula mu kkooti ng'alaalika bw'agenda okujulira ng'awakanya ensala y'omulamuzi eyalagidde akalulu k'e Kawempe North kaddibwemu.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
MUNNAMATEEKA Elias Luyimbaazi Nalukoola ataddeyo empapula mu kkooti ng'alaalika bw'agenda okujulira ng'awakanya ensala y'omulamuzi eyalagidde akalulu k'e Kawempe North kaddibwemu.
Nalukoola okujulira kiddiridde Omulamuzi Bernard Namanya okusazaamu okulondebwa kwe nga omubaka wa Kawempe North nga kino kyavudde ku musango Faridah Nambi owa NRM gwe yamuwawaabira n'akakiiko k'ebyokulonda.
Nambi eyaloopye ne bannamateeka be.
Mu nsala y’omulamuzi Namanya, yagambye nti obujulizi obwaleetebwa Nambi obw’obululu 16,640 okuva mu bifo 14 obutaabalibwa, bwamukosa nnyo nga tewaaliwo bwenkanya eri akakiiko k’ebyokulonda bwe baali bagatta obululu buno.
Agambye nti singa obululu buno bwabalibwa, obululu 8,881, Nalukoola bwe yasinga Nambi bwalikendedde era obuwanguzi bwa Nalukoola butankanibwa kuba tewali amanyi muwendo gw’abantu balonda mu bifo ebyo.
Mu ngeri y’emu omulamuzi yakkiriziganyizza n’obujulizi bwa Nambi nti Nalukoola yakuba kampeyini ku lunaku lw’okulonda mu bifo okuli; Mbogo P/S ne Kazo Angola nga guno musango.
Nambi lwe yalonda mu kalulu k'e Kawempe.
Omulamuzi kwe kulagira akakiiko k’ebyokulonda kaddemu okutegeka okulonda n'alagira buli ludda okwesasulira ssente ze lusaasaanyizza mu musango.
Nalukoola ali Mecca Nalukoola ensala ya kkooti yamusanze Mecca ng’agenze kukola Hijja era okujulira kwe yakuyisizza mu bannamateeka be aba Nyanzi, Kiboneka & Mbabazi Co. Advocates.
Elias Nalukoola gwe baasazizzaamu.
Ssemateeka ky'agamba
Ssemateeka wa Uganda mu nnyingi 81(3) agamba nti tewajjanga kubaawo kujjuza kifo ky'omubaka singa kifuuka kyereere ng'ebula emyezi 6 oba okukka wansi okulonda kw'awamu okw'ababaka ba Palamenti kubeewo.
Okusinziira ku nteekateeka z'akakiiko k'ebyokulonda, okulonda kwa Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti kwakubaawo nga January 12, 2026 ekitegeeza nti kkooti ejulirwamu erina okuwa ensala ku kujulira kwa Nalukoola ng'olwa
July 12 telunnatuuka.
No Comment