Eng'uumi enyoose ku ofiisi za NUP e Kayunga olw'obutakkaanya obubaluse mu babadde bazze okutuuza olukiiko
Jun 06, 2025
Enkalu zinoonyezza obukongovule eng'uumi n'etokota ku ofiisi z'ekibiina kya NUP e Kayunga abakulembeze ababadde bazze okutuuza olukiiko bwe bafunye obutakkaanya ne bagwang'ana mu malaka.
By Saul Wokulira
Journalist @New Vision
Enkalu zinoonyezza obukongovule eng'uumi n'etokota ku ofiisi z'ekibiina kya NUP e Kayunga abakulembeze ababadde bazze okutuuza olukiiko bwe bafunye obutakkaanya ne bagwang'ana mu malaka.
Afande Onghada Ng'ayogera Ne Bannakibiina Bwe Baabadde Bazze Okuzza Embeera Mu Nteeko.
Bakkansala abaayitamu ku kkaadi y'ekibiina abaakulembeddwa Rehema Namulondo owa Kayunga Town Council ne Joel Kayiira ow'e Galiraaya babadde bazze okwegeyaamu ku ngeri gye basobola okwetegekera okulonda enkiiko z'abavubuka okubindabinda.
Kigambibwa nti ekibinja eky'abaavuganya ne bagwa mu kulonda okwaggwa nga kikulembeddwa Harriet Nakweede kiyungudde ekibinja ky'abavubuka nga bakutte emiggo ne basalako ofiisi olwo okulwana ne kutandika.
Oluggi Lwa Ofiisi Baalutaddeko Kkkufulu.
Balumbaganye nga bwe baggalawo ofiisi abalala bwe bagiggulawo ku kifuba era "Registrar" w'ekibiina Patrick Kamulegeya nga tannakwatamu ebibye okuviira ekibabu ayogeddeko naffe n'ategeeza nti ebiwayi ebibiri ebiri mu kibiina bigootaanya emirimu.
Oluvannyuma lw'okulwana, Kayiira era nga ye yakuuma entebe ya ssentebe wa disitulikiti y'e Kayunga nga ssentebe Sserubogo afudde, ayogeddeko ne Bukedde n'ategeeza nti olukiiko lubadde lwakulaba nga batereeza ebitatambula bulungi mu kibiina era nga byolekedde okukifeebya mu kulonda okujja.
Poliisi ng’ekulemberwa Afande Onghada Moses etuuse okuzza embeera mu nteeko era ababadde babagalidde emiggo olulabye abaserikale ne bassaako kakokola tondekanyuma.
Afande Onghada ayogedde ne Bannakibiina n'abakuutira okukuuma emirembe era beewale okumenya amateeka.
No Comment