Okugema Mpox kugenda mu maaso e Kalangala

Jun 12, 2025

OKUGEMA obulwadde obwa Monkey Pox (Mpox) mu disitulikiti y’e Kalangala kutandise oluvannyuma lwa minisitule y’ebyobulamu okubawa eddagala.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

OKUGEMA obulwadde obwa Monkey Pox (Mpox) mu disitulikiti y’e Kalangala kutandise oluvannyuma lwa minisitule y’ebyobulamu okubawa eddagala.
We bwatuukidde wiiki ewedde nga disitulikiti eno erina abalwadde abaweza ebitundu 75 ku 100 ekyaleese obunkenke. Kati Gavumenti ng’eyita mu kitongole ky’ebyobulamu ewadde abeeno eddagala ly’okubugema doozi esooka are kuno kwatandikiddewo bunnambiro.
Godfrey Hadubi, akulira okulondoola endwadde mu Kalangala agamba nti, batandise n’abantu abali mu bulabe obw’amaanyi obw’okufuna obulwadde buno omuli; abeenyigira mu kutunda
akaboozi n’ababettanira, abasawo, abasaabaza abantu, abakozesa ebiragalalagala n’abantu abawangaalira ku myalo.
“Okugema kuli mu bantu abali wakati w’emyaka 12 okutuuka ku 59, era abasukka mu 4,000 be baakafuna ddoozi yaabwe esooka, nga baakuweebwa eyookubiri oluvannyuma lw’ennaku 28. Okugema kwa kutwala ennaku musanvu okwetooloola ebizinga byonna,” Hadubi bwe yategeezezza.
Okusinziira ku lipooti y’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu, obulwadde bwa Mpox butadde ensi yonna ku bunkenke ng’abantu 37,000 be baakakasibwa nti, babulina okuva mu mawanga 25. Abantu 125 be baakafa Mpox okusinziira ku lipooti.
Peter Ssekante omu ku baagemeddwa, agamba nti, kino kyokka ky’ekiyinza okubataasa kubanga ebizinga birimu abantu ab’amawanga gonna kale nga kyangu okusaasaana.
“Wandibaddewo okusomesa okw’enjawulo naddala ku bulwadde buno abantu ne bongera okumanya bwe bayinza okubwetangira kubanga bangi bawulira kiwulire n’abamu bamuyita nnamusuna,” Joseph Lubega omu ku bakulembeze bwe yagambye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});