Akulira okulwanyisa envuba embi alagidde abaakwatibwa bayimbulwe Col. Tukahirwa (wakati mu yunifoomi y’amagye), omubaka Kajwengye (ku ddyo) nga bali n’abavubi.

Jun 16, 2025

MUNNAMAGYE akulira ekibinja kya UPDF ekirwanyisa envuba embi mu ggwanga, Lt Col Mercy Tukahirwa alagidde bonna abaakwatibwa mu nvuba embi ku nnyanja y’e Kacheera bateebwe baddizibwe n’amaato ne ppikippiki zaabwe.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

MUNNAMAGYE akulira ekibinja kya UPDF ekirwanyisa envuba embi mu ggwanga, Lt Col Mercy Tukahirwa alagidde bonna abaakwatibwa mu nvuba embi ku nnyanja y’e Kacheera bateebwe baddizibwe n’amaato ne ppikippiki zaabwe.
Lt. Col. Tukahirwa okuwa ekiragiro kino, kiddiridde abavubi okwekubira enduulu eri omubaka waabwe atwala disitulikiti y’e Kiruhura, Wilson Kajwengye nga bagamba nti amagye gasussizza okubakuba embooko era omubaka kwe kusalawo ayite Lt. Col. Tukahirwa ataase embeera.
Mu lukiiko luno, abavubi baasoose kubasomesa ku mateeka agafuga envuba era wano abavubi we baasinzidde ne bamulombojjera ennaku gye bayitamu omuli okubakuba embooko, okubaggyako ssente za layisinsi ne batabawa lisiiti kwossa ne ppikippiki zaabwe n’amaato agaabaggyibwako nga mu kiseera kino obwavu bujula okubatta nga tebalina na kyakulya wadde abazzizza abaana baabwe ku masomero.
Bano era baalumirizza akulira eggye elirwanyisa envuba embi ku nnyanja eno, Pt. Moses Nahabwe okubeera ne b’attira ku liiso. Wano omubaka Kajwengye we yasinzidde n’asaba Col. Tukahirwa asonyiwe abantu be.
Lt Col Tukahirwa yagambye nti wadde abasonyiye naye balina okugoberera amateeka era beewale okulwanagana n’abaserikale era yalagidde akulira amagye mu kitundu ekyo ku nnyanja eno, Pt. Moses Nahabwe obutaddamu kulagira baserikale kukuba bavubi ku nnyanja wabula babalambike bwe balina okutambuzaamu emirimu gyabwe.
Amyuka RDC, Moses Mwesigye yasiimye Lt Col. Tukahirwa okusomesa abavubi ate n’okusonyiwa abaali baasibwa era n’asaba abavubi okugoberera amateeka

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});