Ababbi baakubye abakuumi eddolera ne baamenya bbanka ne babba obukadde 192
POLIISI y'e Nakasongola ekutte abantu bana bagiyambeko okubuuliriza ku kumenya bbanka ne babba ensimbi n'ebintu ebirala.
Ababbi baakubye abakuumi eddolera ne baamenya bbanka ne babba obukadde 192
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
POLIISI y'e Nakasongola ekutte abantu bana bagiyambeko okubuuliriza ku kumenya bbanka ne babba ensimbi n'ebintu ebirala.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna Sam Twineamazima ategeezezza nti ababbi abatannategeerekeka baamenye bbanka ya FINCA mu central ward ne bakuliita ne 192,587,800/, laptop bbiri n'ebintu ebirala.
Kigambibwa nti ababbi baakubye eddolera abakuumi babiri aba kampuni ya SGA security abaabadde bakuuma banka eno ne bagyesogga ne banyagulula.
Poliisi yatuuse ne yeekebejja ekifo oluvamnyuma n'ekwata bana bagiyambe okubuuliriza.