Pulezidenti Museveni awabudde abantu okwettanira okutereka basobole okweggya mu bwavu.
PULEZIDENTI Museveni akubirizza abantu okuyiga okweterekera ku katono kebaba bafunye olwo basobole okulwanyisa obwaavu mu maka gabwe.

Eby'alaani ebiweereddwa abantu
Bino bibadde mu bubaka bwe bwaatisse avunaanyizibwa ku maka g'obwapulezidenti Jane Barekye, bw'abadde atongozezza pulogulamu ya Youth Wealth Creation Program.
Pulogulamu eno ekwanaganyizibwa omukungu okuva mu maka g'obwapulezidenti Faisal Ndase, ng’essibwamu amaka g’obwapulezidenti ensimbi okuyita mu gaavunaanyzibwaako Barekye era yatandiika mu mwaka gwa 2022, n'ekigenderrwa eky'okusitula embeera z’abantu abakola emirimu gya wansi naddala abavubuka.
Abavubuka abasoba mu 900, bebaakaganyurwa mu pulogulamu eno nga kubano kuliko; abatunzi b’ebyalaani, abakola mu saluuni, abasiika chapati, aba chipusi n’abasiika emberenge.

Abantu nga bafuna ebintu
Kati leero abavubuka abali eyo mu 170, mu muluka gwa Kamwokya11 baganyuddwa mu nteekateeka eno nga bakwasiddwa ebikozesebwa mu bizinensi okuli engano, ebyalani, butto buli omu liita 20, ensawo y’obumonde, zi dulaaya za saluuni,obuuma obusiika emberenge n’ebirala.
Balekye bano abakubirizza obutatunda bintu bibaweereddwa wabula babikozese okukyusa embeera zabwe era n’abakubiriza obutava ku Pulezidenti Museveni kubanga gwolabye ye mwana ate ye muntu yekka alina omutima ogulumirirwa omuntu wa wansi.

Ebimu ku bintu ebigabiddwa
Faisal Ndase ategeeza nti bwebava mu bitundu bye Kamwokya bagenda kudda mu Kisenyi, Katwe, Makindye ne Kawempe olwo balyoke bakwate ku bitundu ebya Wakiso.
Ndase agamba nti olw'enteekateeka nga zino abavubuka bongedde okwenyumiriza mu gavumenti ya Pulezidenti era eno ye nsonga lwaki NRM yeeriisizza nkuuli mu kalulu ka bavuka mu Kampala ne Uganda okutwaliza wamu.

Omu ku bafunye ebintu ng'asanyukira omukungu wa State House
Bo abaweereddwa ebintu bino wakati mu kukulukusa amaziga ag’essanyu basiimye Belekye ne Ndase olw’okubeera n’emutima oggyaagaliza omuntu wa wansi era ne basiima pulezidenti olw’obuwagizi bwabawa mu pulogulamu eno bwo ne babubatusaako.

De 13