Wabaddewo akanyoolagano, poliisi bw'ebadde ekwata omu ku bawagizi ba NUP agambibwa okuva mu mmotoka etimbiddwa ebipande ne langi z'ekibiina n'agisimba okumpi n'awabadde olukung’aana lwa NRM.
Bibadde ku nkulungo ya Bunya e Kasokoso mu kibuga ky’e Iganga, Minisita Alitwala Kadaga bw'abadde akubye olukung’aana okunoonya obuwagizi mu kamyufu k'ekifo ky'omumyuka Owokubiri owa NRM ku CEC mu kitundu ekyo.
Kigambibwa nti Muhammad Sharifa Kisame 29 owa NUP, avuze emmotoka eriko langi emmyufu nga kuliko ebipande nga tekuli nnamba, n'agisimba mu kifo awabadde olukung’aana ekireeseewo akanyoolagano.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kafayo, agambye nti ddereeva w'emmotoka eno Kisame nga mutuuze w'e Nkono one e Iganga ,akwatiddwa wakati mu kanyoolagano, ne bamuggalira.
Ayongeddeko nti bamuguddeko emisango gy'okuvuga emmotoka eri mu mbeera embi, okutali nnamba, obutabeerako yinsuwa era ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso.