EYALIKO omubaka wa Palamenti owa Nakifuma era ng’azzeemu okuvuganya agambye nti ettulawamu lye livaako abavubuka okwetaba mu bikolwa ebikyamu ouli n’okwekalakaasa.
Ying. Kafeero Ssekitooleko mu lukung’ana lw’okuperereza akalulu k’akamyufu ka NRM lwe yakubye ku kyalo Diikwe mu Nakifuma Naggalama TC, yagambye nti talowooza nti omuvubuka alina omulimu ayinza okuguddukako n’agenda okwekalakaasa.
Yagambye nti nga bazzeemu ne bamulonda agenda kwongera ku kaweefube gwe yatandikako e Nakifuma Gavumenti eyongere amaanyi mu kugunjaawo amakolero abavubuka bafune ebyokola.
Omubaka Fred Ssimbwa ye yasuula Kafeero mu kulonda okwaggwa okwalimu omuyaga gwa manvuuli.