Bannabyabufuzi balabuddwa ku kukola eggaali mu kunoonya akalulu

POLIISI n'ebitongole ebirala ebikuumaddembe , beetegese okulaba ng'akalulu k'akamyufu kakomekkerezebwa mu mirembe.

Bannabyabufuzi balabuddwa ku kukola eggaali mu kunoonya akalulu
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kulabula #Kunoonya #Ggaali #Kalulu

POLIISI n'ebitongole ebirala ebikuumaddembe , beetegese okulaba ng'akalulu k'akamyufu kakomekkerezebwa mu mirembe.

Abantu abasoba mu 60 be baakakwatibwa ku bikolwa eby'efujjo okulwana n'okutuusa obuvune ku balala, mu kunoonya akalulu k'akamyufu, akakomekkerezebwa leero.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti omuduumizi wa poliisi,  Abbas Byakagaba, asobodde okusisinkana abantu ab'enjawulo e Mbarara, Isingiro , Sembabule , Kabale, Rukungiri ne Rukiga okubakakasa nti okulonda kujja kuba kwa mirembe.

Kituuma agambye nti baweze abantu abalina emmundu n'ebissi ebirala okusemberera ebifo we bakubira n'okugattira obululu, okuggyako abo bokka, abali ku mirimu.

Alabudde bannabyafuzi okwewala eggaali mu kiseera nga balondoola obululu bwabwe n'abasaba okutambula n'abantu abatasukka  bana.